21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Ebitiisa ku Kenzo okulwawo okuwasa.

Kyaddaki omuyimbi Edrisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo abotodde ekyama lwaki aluddewo okuwasa okufuna omukyala omulala, okudda mu bigere bya Rema Namakula.

Rema yafuna obutakaanya ne bba Kenzo okuva mu 2017 era mu 2018 embeera yeyongera okwonooneka.

Mu 2019, Rema mu butongole yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya era nga 14 November 2019, omusajja yamwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Obulamu bwa Rema ne Kenzo!

Kenzo yali mu laavu ne Rema nga byankukutu okuva 2013. Mu 2014 Rema yafuna olubuto era bannayuganda baali batambuza ebigambo nga balowooza olubuto lwa muyimbi wa KadongoKamu Mathias Walukaga kati meeya wa Tawuni Kanso y’e Kyengera.

Wabula oluvanyuma lwa Rema okuzaala omwana mu December wa 2014 ku Paragon Hospital e Bugolobi, Kenzo yakkiriza nti omwana wa Rema yali mwana we era amangu ddala yaweebwa erinnya lya Aamaal Muzuuza.

Mu biseera ebyo, kigambibwa omuyimbi Walukaga yali alemeddeko okutwala omwana ku ndaga butonde, okuzuula taata w’omwana omutuufu.

Ate waliwo abagamba nti Kenzo okuwangula BET mu 2015, Rema yali alina okumuwa omwana wabula ekirungi, kyali kituufu nga ddala omwana yamuzaala.

Rema ng’ali mu bufumbo!

Mu kiseera nga Rema ali mu bufumbo, wadde mu kusooka baali balina essanyu, ebintu byakyuuka mpolampola.

Kenzo yagula amaka mu bitundu bye Seguku, okuweesa mukyala we Rema ekitiibwa.

Mu biseera ebyo, Kenzo yali w’amaanyi nnyo mu kisaawe ky’okuyimba mu Uganda n’ensi z’ebweru olw’ennyimba

Related posts

Ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba ewezezza emyaka 136

OUR REPORTER

Abasajja 35 bibawenddeko oluvannyuma lwa DNA.

OUR REPORTER

5 bafiiridde mukabenje ,abawerako bacapooca nabisago.

OUR REPORTER

Leave a Comment