17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

3 bavunaaniddwa gwabufere.

Moses Soikya 50, omutuuze w’e Magere-Kito mu disitukiti y’e Wakiso y’avunaaniddwa wamu ne James Tumushabe 56 ow’e Makindye ssaako Silas Ssemwanga Sserwano ow’e Bajjo Seeta. 

 Abasatu bano baakwatiddwa akakiiko aka State House Anti-Corruption Unit lwa kwefuula bakozi ba State House ne bafera abantu.

Kigambibwa nti bano wakati wa June 13 ne June 23, 2023 ku Embassy House mu Kampala n’ekigendererwa eky’okufera Annet Namusisi beeyanjula nga abakozi mu maka g’obwapulezidenti ng’ate si kye bali.

Oludda oluwaabi lugamba nti n’omulala eyeeyita Maj. Jimmy Katende baludde nga beeyita abakozi mu maka g’obwapulezidenti nga bagamba bagonjoola ensonga z’ettaka n’ebigendererwa by’okunyaga abantu.

Kigambibwa nti era babadde bakozesa empapula eziriko akabonero ne laama ya State House era nga baalabulwa dda akakulira akakiiko k’ebyettaka mu maka g’obwapulezidenti kyokka ne bagenda mu maaso n’emize gyabwe.

Baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Edgar Karakire owa kkooti ya City Hall era ne beegaana omusango gw’okwefuula kye batali.

Bayise mu looya waabwe Deus Byamugisha ne basaba kkooti ebayimbule ku kakalu ka kkooti, nti kubanga guno omusango gweyimirirwa ate bamaze ebbanga ddene mu kaduukulu ka poliisi.

Omulamuzi yabayimbudde ku kakalu ka kkooti ka bukadde butaano buli omu ezitali za buliwo n’abategeeza nti basajja bakulu mu myaka are n’ababeeyimirira nabo basaanidde. Abalagidde okudda mu kkooti nga July 26,2023 okutandika okuwulira emisango gino.

Related posts

Abadde agenze okuloopa bazadde be azaalidde ku police

OUR REPORTER

Abasibe 1033 bebakawebwa ekisonyiwo.

OUR REPORTER

BA CDO BASATU BASINDIKIBWA KU ALIMANDA MU KKOMERA

OUR REPORTER

Leave a Comment