Abasibe bataano ab’ekkomera lye Butuntumula bafiiriddewo mbulaga ate abawerako nebagendera ku bisago ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Abaafudde kuliko; Elias Kizito, Mutwalibu Lugoolobi, Innocent Gumisirize, Umar Sentamu, ne Ronald Nsubuga.
Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa 4’ez’okumakya ku Mmande ku kyalo Nalongo mu Luweero.
Okusinziira ku beerabiddeko akabenje kano kavudde ku loole y’ekitongole ky’ amakomera nnamba UG 0363U eyabadde egenda e Nakasongola okutomeragana ne Toyota Fielder nnamba, UBG 587W eyabadde eyabise omupiira.
Loole eno yabaddeko abasibe abawera 54 awamu n’abakuumi 12 nga babadde bagenda mu ffaamu emu okulima.
Adduumira poliisi e Luweero, Livingstone Twazagye, okunoonyereza kulaga nti emmotoka Fielder yayabise omupiira neyingirira Loole nayo eyalemeredde omugoba waayo neyefuula.
Twazagye yategeezezza nti emirambo awamu n’abafunye ebisago batwaliddwa ku ddwaliro lya Luweero Hospital ate ye ddereeva wa Fielder anoonyezebwa.
Kansala w’omuluka guno, Salim Zimula, yasabye abamakomera okukomya okutambuza abasibe ng’ente kiyambe okukendeeza ku bubenje era nasaba bakomye okutwalibwa okulima kuba bino si byebibonerezo ebyabaweebwa kkooti.
Amyuka omwogezi w’ekitongole ky’ amakomera, Moses Sentalo, yategeezezza nti bagenda kufulumyawo alipoota ekwata ku kabenje kano