Ekitongole kya AIDS Healthcare foundation (AHF) nga kiri wamu ne uganda cares batandise kaweefube ow’okusomesa bannayuganda ku nsonga ze kikyala.
Kaweefube ono baamutandikidde mu bifo eby’enzigotta mu kampala okuli kamwokya nga yagendereddwamu okulaga Bannayuganda akabi akali mu kusosola abakyala oba abawala abagenda mu nsonga z’ekikyala
Mu nsi yonna abaana ab’obuwala abakyali mu masomero basubwa ennaku 16 ez’okusoma mu mwaka nga kiva ku kuba nti babeera mu nsonga ate nga tebafiiriddwako.

Ezimu ku nsonga ezisinga okuviirako abaana bano okusosolwa lye bbula lye bikozesebwa okuli pads n’ebirala nga wano mu Africa okusinga obwavu bwebusinga okuviirako embeera eyo.
Abaana abawala batandika okugenda mu nsonga ku myaka 11 era bangi olw’obutamanya bayisibwa bubi n’abalala ne baboolebwa ku masomero ne byalo gyebava.
Kati baagala gavumenti esitukiremu etandike okuwa abaana abobuwala ebikozesebwa mu nsonga zekikyala nekigendererwa rkyokumalawo okusosolwa olwensonga zekikyala