Omukulembeze w’egwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga wiiki ewedde, yakirizza amasinzizzo okuddamu okuggulawo wabula n’abateekako obukwakulizo obutasukka bantu 200, ekintu abakulembeze benzikiriza ezenjawulo kye bawakanya nga bagamba nti abantu 200 abalagiddwa baton nnyo. Pasta Joseph Sserwadda Ono nga y’amyuuka sentebe w’ekibiina ekigatta enzikiriza ezisusuta Kristi ekya Inter Religious Council Yagambye nti, twebaza pulezidenti olw’okujukira nti n’amasinzizzo galina omugaso n’agaggulawo. Mulutalo luno olw’okuleanyisa ekirwadde Kya covid-19, bannadiini balina omulimu munene okugatta abantu ababadde baweddemu esuubi olw’omuggalo omuwanvu gwe babaddemu, tusaba ayongere okulowooza kumuwendo gw’abantu, kuba amasinzizzo agamu mane nga gasobola okutuuza abantu abasoba mu 200 ate nga besudde amabanga. Abamabbaala bakukulumidde M7 Abamu kubakozi abasangiddwa ku baala ya Bule Bar esangibwa e kireka bategezezza nti, emyaaka ebiri gye baze nga tebakola bafiriddwa ebitagambika kuba omulimu gwe bakola gwe gubayamba okusobola okwayimirizawo. Bano bakukulumidde pulezidenti nga bagamba nti tayonza kuggulwawo butale, makanisa, beting n’obutale, gye batasobola kukuuma mabanga, kyokka bbo abasobola okubitukiriza n’abakuira kumuggalo Kati emyaaka ebiri,tusaba abamuwa amagezi naffe okutufako kuba tulina betulanirira ng’abakola mu bizinesi endala. M7 alabudde okugoba ba RDC Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga kunsonga za covid-19, yategezezza nga bwagenda okugoba ababaka be mu disitulikiti ( RDC) n’abakulira abakozi (CAO), singa balemererwa okukunga abantu okugemwa ekintu ekiyinza okuvirako eddagala eryatuwereddwa okwononeka. Yagbye nti mulimu gwamukozi wa gavumenti okwagazisa n’okumanyisa entekateka za gavumenti eri abantu bonna, era Oyo yenna analemwa okukikola wakugobwa. Amasomero gakuggulwawo mu January w’omwaka ogujja Pulezidenti era yategezezza ng’amasimero bwe gagenda okuggulwawo mu January w’omwaka ogujja ng’abasomesa n’abakozi mu masomero ago bamaze okugemebwa. Kyambadde Edward Ono nga musomesa e Lugazi yawanjagidde pulezidenti okubayamba kumabanja ga banka kuba zagala kutwala masomero gabwe. Ono yagbye nti banka zaakatuyamba emirundi esatu gyokka, nga Kati bbanka gyetutereka zitugamba nti tebalina kyakutukolera zigenda kusigala nga zitubala amagoba wadde nga tetukyakola. Ye Minista omubeezi ow’ebyamatendekero John Cherizestom Muyingo yagambye nti amasomero nga gazzemu, bagenda kutandikira ku bibiina ebyawansi ebibadde bitafuna mukisa kusoma. Yagambye nti P1 ne P2 bakusoma okuva ku Mmande n’olwokubiri ate P3 ne p4 basome okuva ku lw’okusatu olw’okuna n’olwokutaano. Ono yagambye nti omulundi guno, tebagenda kukirizza bazadde kubuusa baana bibiina, kuba kijja kuvurako omutindo gw’ebyenj