14.3 C
Los Angeles
April 2, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Aba booda booda bakubye Loodimmeeya Erias Lukwago mu kkooti ku by’okulemesa okubawandiisa.

Abakulembeze mumulimo gwa Boda Boda okuva mu ggombolola ettaano ezikola ekibuga Kampala batutte Loodimmeeya wa Kampala, Salongo  Erias Lukwago mu kkooti  nga bamuvunaana okulemesa enteekateeka y’okubawandiisa.

Bano nga bakulembeddwa Ssentebe wabwe, Siraje Mutyaba bagamba omulimo gwabwe guzze gufuna okusomoozebwa nga eky’okuwandiisibwa nteekateeka nnungi egenda okubayamba okuteekerwateekerwa nga tebamanyi lwaki Lukwago agyekiikamu.

Kati bano Lukwago bamuwadde ennaku 3 zokka nga amenyeewo ebigambo byeyayogedde ku nteekateeka y’okubawandiisa oba si kyo bawerenembe naye mu mbuga.

Kino kiddiridde Omuloodi Erias Lukwago okuwera nga bwagenda okukuba ekitongole ki KCCA ne Minisita Kabuye Kyofatogabye n’abakulu abalala mu mbuga nga abalanga okuwandiisa aba boodabooda mu bukyamu.

Kinajjukirwa nti gavumenti enteekateeka y’okuwandiisa abagoba ba booda booda mu Kampala yagukwasa kampuni eya Uganda Driving Standard Agenccy (UDSA) nga buli muvuzi wa Booda Booda asuubirwa okusasula emitwalo gya siringi 6 okusobola okusomesebwa.

Kino Loodimmeeya Lukwago akiwakanya wadde abamu ku ba boodabooda bagamba nti bweba yengeri yokka gyebasobola okusigala nga bakolera mu kibuga Kampala ensimbi zino bajja kuzisasula basobole okubangulwa.

Related posts

Omwami wa ssabasajja mu ssaza ly’e Bugisu atuuziddwa

OUR REPORTER

Abetaba n’abalwadde ba covid batadde ebyalo ku bunkenke

OUR REPORTER

Minisita Kiyimba asabye abantu ba Buganda okwettanira obwegassi .

OUR REPORTER

Leave a Comment