ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo oluvannyuma lw’okulongoosebwa amaviivi .
Wiiki ewedde omunigeria Francis Azolibe yalongooseddwa evviivi ly’okugulu kwa ddyo ne Steven Omony evviivi ly’okugulu kwa kkono, ababiri bano babadde mpagi luwaga mu kuyamba City Oilers okuwangula ekikopo kya sizoni wabula baafuna obuvune mu kiseera nga sizoni eneetera okuwunzikibwa.
Ku Ssande City Oilers yawangudde ekikopo kya Basketball ekyomusanvu mu sizoni musanvu ez’omuddiring’anwa bwe baakubye UCU Canons ku bugoba 72-57 ku luzannya olwomusanvu ekyabafudde ttiimu ekyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi.
“Kiwa essuubi nti abazannyi baffe baalongoseddwa ne watabaawo buzibu bulala ate bubalukawo, era tusuubira nti bagenda kuwona mangu ate bakomewo ku ttiimu, tulina abazannyi bangi ate bonna basobola era tugenda kutambula n’abo mu mpaka ez’enjawulo,” Mandy Juruni atendeka City Oilers bwe yategeezezza.