Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng’erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky’abayizi abawala abayosa
Mu kawefube w’okulaba nga abaana ab’obuwala tebava mu masomero nga tebannamalako,
Ab’ekitongole kya Miss Uganda Foundation basse omukago n’aba AFRIpads okutalaaga amasomero nga bagabira abayizi abawala paadi ez’omulembe ng’erimu ku makkubo okulwanyisa ekizibu ky’abayizi abayosa n’okudduka mu somero.
Nga batongoza enkolagaana eno ku mukolo ogwabadde ku somero lya Namugoona High School e Namungoona gye bagabidde abayizi abasobye mu 100 paadi ssaako okubabuulirira n’okubasomesa ku nkozesa yaazo.
Brenda Nanyonjo eyakulembeddemu ttiimu ya Miss Uganda yategezezza nti okunoonyereza okuze kukolebwa kulaga abawala bangi abamala wakati w’ennaku 15 ne 20 buli ttamu nga tebagenze kusoma buli lwe batuuka mu kiseera ky’okugenda mu nsonga z’ekikyala.
Nanyonjo agamba olw’embeera y’ebyenfuna mu bantu, abazadde bangi tebasobola kugulira baana babwe paadi ate olw’okutya okuswala mu bannabwe, ekiseera ky’okugenda mu nsonga z’ekikyala bwekituuka abawala abamu basalawo okusigala awaka ate abalala bibatama n’eby’okusoma ne babivako. Nanyonjo ng’abuulirira n’okusomesa abayizi ku paadi.
Gertrude Adeker Emojong kulwa AFRIpads yategezezza nti mu ntekateeka eno etuumiddwa ‘school girl kit’ abayizi bagenda kubawa paadi ezisobola okukozesebwa okumala omwaka mulamba ssinga zirabirirwa bulungi ekinaabakuumira mu masomero.
Ye Ronald Ssemaganda akulira esomero lino yasiimye enteekateeka eno, agamba omulamwa gwe baliko mukulu kubanga ekizibu kino kikosezza nnyo abaana era ne gavumenti yeetaga okusituukiramu okuyamba ku masomero n’abazadde.