Bannakibiina ki National Economic Empowerment Dialogue [NEED] ekikulemberwa Joseph Kiiza Kabuleta bagamba nti ameefuga ga Uganda tegalina makulu eri bannansi kubanga bakyatulugunyizibwa ebitagambika.
Bano bino babitegeezezza olukung’aana lwa bannamawulire lwebatuuzizza e Bugoloobi ku kitebe kyabwe ku Mmande nga boogera ku meefuga ga Uganda ag’emyaka 60.
Omwogezi w’ekibiina kino Moses Matovu agamba nti embeera eriwo mu ggwanga telaga kwefuga era nga byonna bivudde ku bakulembeze abatafaayo ku bannansi nga tewali nsonga lwaki gakuzibwa.
Matovu annyonnyodde nti ensi zonna Uganda zeyali esinga nga yakafuna obwetwaze zonna zagireka nga n’ebyobulimi ebyali biwa bannansi essuubi nabyo gavumenti ya Pulezidenti Museveni yabidobonkanya.
Ye Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Asuman Odaka asinzidde wano nalaga ng’ebikolwa bya Pulezidenti Museveni okuwagira Omuyitale Enrica Pinneti atwale emmwaanyi z’eggwanga bweziraga nti tewali bannansi kyebafuna mukwefuga.
Okusinziira ku Odaka mu 1962 Uganda weyafunira obwetwaze nga buli ayagala obuyambi agenda ku poliisi naye kati buli ajiraba agidduka ekyongera okukakasa nti okwefuga temwali makulu.
Abakulira NEED era balaze okutya ku ngeri ensonga z’okusima amafuta awamu nebyenjigiriza gyebikwatiddwamu mu ggwanga gyebagamba nti yakwongera okulinyika.
Bano era basinzidde mu lukung’aana luno nebanjula abakulembeze b’ekibiiba okuli; Asuman Odaka nga Ssaabawandiisim Ssetumba Godfrey Tamale nga ow’ebyensimbi, Maxwell Bigirwa nga ssentebe w’ abavubuka e Makerere awamu n’abalala.