ABAKRISTAAYO b’ekkanisa y’omutukuvu Stephen e Kasangati bakungubagidde mukyala w’eyaliko omukubiriza waabwe eyafudde.
Norah Namusoke Kasasa ng’abadde mukyala wa Edward Kasasa, nga yakubirizaako ekkanisa eno, era nga ssentebe wa LC2 ow’omuluka gwa Wampeewo ate y’amyuuka avunaanyizibwa ku kulambula amasomero mu Kasangati tawuni kanso eyafudde Puleesa ku Lwomukaaga.
Mu kusaba okwakulembeddwa Ordinand Noah Ntume, mu kkanisa eno nga kwetabiddwamu omubaka wa Wakiso mu Palamenti Betty Naluyima, omwami n’omukyala Bassenninde, n’Abakristaayo.

Ntume yagambye nti tuli munsi y’abatambuze era ey’obugenyi nti tukimanye ekiseera kyonna tuddayo gye twava ewa Mukama Katonda, n’olwekyo tulina obuteeyibaala essaawa eyo bw’etuuka oba olina okukyaluka n’oddayo.
“Kyandibadde kirungi mukyuse ebikolwa byammwe nga mukyali munsi y’obugenyi, muyitirize okwenenya, mutuukirire okuyingira obulamu obutaggwaawo nga ddala musaanidde,” bw’atyo Ntume bwe yakkaatiriza.
Naluyima asaasidde Kasasa olw’okuviibwako Mukyalawe, n’agumya abaana nti beekwase Katonda kuba naye Maama yamuleka muto nga myaka mukaaga naye avuddemu omuntu ow’omugaso eri abantu n’asaba Bannakasangati okwegatta mu kusiguukulula obukulembeze bwe bannakyemalira.
Namusoke yaziikiddwa e Magogo ku luguudo lwa Hoima.