22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu atwaliddwa mu ddwaliro.

Police e Katwe mu Kampala etandise okunoonyereza ku ngeri abaana babiri gyebafuddemu ekiziyiro, mu Zone ya Kironde Kabowa mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.

Kigambibwa nti abagenzi okuli Namuddu Aya ne Kawuki Arafat okufiira mu nyumba mu kiro, nnyabwe Nassazi Ziidda abadde abalese mu nnyumba n’agenda okusula mu kusaba okwenjawulo.

Kiteeberezebwa nti omuliro guno gwatandikidde mu kimu ku bisenge omubadde Omwana Sseruwaji Ashraf owemyaka 12, kyokka abatuuze oluwulidde nga gutandise nebataakirizaako kyebasobodde.

Abatuuze bakoze ekisoboka okuzikiza omuliro guno era Sseruwaji Ashraf n’ataasibwa naddusiddwa mu ddwaliro e Mulago okujjanjabwa, ate ababiri basangiddwa bafudde ekiziyiro emirambo gyabwe negitwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.

Amyuka Omwogezi wa police mu Kampala nemiriraano Luke Oweyisigire agambye waliwo ebimu ku bizibiti ebizuuliddwawo, ebigenda okuyambako police mu kunoonyereza kukivuddeko omuliro.

Related posts

Enanga ategeezezza nti baliko byebazudde ku baalumbye Poliisi y’e Busiika.

OUR REPORTER

Ebiri mu lipooti ku ndagaano ye mwanyi – Ababaka basazeewo endagaano y’e mwanyi esazibwemu

OUR REPORTER

The iPhone 8 May Be Bigger Than The iPhone 7, Its Predecessor

vega

Leave a Comment