22.4 C
Los Angeles
June 3, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abaana balumirizza nnyabwe okubera n’ekitambo.

Abaana banaabidde nnyabwe mu maaso bagala abaviire mu nju omugenzi kitabwe gyeyabalekera, bamulanga kubeera kubayisa bubi saako okubeera n’ekitambo.

Kino kiwalirizza ab’obuyinza okulagira Namwandu Annet Mwogeza okufuluma enju y’abaana adde muyiye bba gyeyamulekera.

Basoose kusoma ekiraamo omugenzi George Wayeya kyeyaleka mu mwaka gwa 2017.

Bibadde ku kyalo Gayaza mu gombolola ye Nazigo mu district ye Kayunga, mu lukiiko olutuuziddwa akola ku nsonga z’a Maka n’okulondoola ebintu by’abagenzi Collins Kaffeero.

Namwandu Annet Mwogeza alagiddwa okuva munju ya bba gyeyalekeera abaana be, adde mu yiye.

Mukwogerako n’abamu ku baana  b’omugezi  kwossa n’abatuuze bagamba nti maama ono alemedde munju yabwe ngate naye yali yawebwa ekibanja kye e Nazigo, era  bamulumiriza okubayisa obubi nga tabakkiriza kulimira ku kibanja kya kitabwe kyeyabalekera saako okubeera omusezi.

Kafeero Collins avunyizibwa ku nsonga z’amaka n’okulondoola ebintu by’abafu mu district ye kayunga  alagidde Namwandu ono okuva ku kibanja kino akirekere abaana nabo babeeko kyebakolerako.

Related posts

 Omuvubuka aleppuka na gwa kubba mipiira gya mmotoka.                    

OUR REPORTER

Ebikonde binyose ku kitebe kya KCCA e Makindye.

OUR REPORTER

Taata w’omugenzi Olaxes ayagala kusisinkana Museveni.

OUR REPORTER

Leave a Comment