17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ababadde bakukusa ebinazi bakwatiddwa e Mukono.

Poliisi y’e Mukono ng’eri wamu n’abekitongole ekikessi ekya CMI eriko abasajja basatu abagambibwa okukwaatibwa mu kiro ekyakeesezza olunaku olwokusatu nga bano babadde beegumbulidde omuze ogw’okkukusa ebinazi okuva e buvuma ne babitunda mu bumenyi bw’amateeka e kampala.

Abakwate kuliko Moses Mugagga Kajungu omutuuze w’e Najjeera agambibwa okukulembera akabinja kano n’abalala babiri poliisi be yasazeewo okusirikira amannya okwewala okutataaganya okunoonyereza era ng’emotoka zaabwe mwe babadde batambuliza ebinazi okuli UBE 902R NE UBG 214L zikuumibwa ku poliisi e Mukono.

Ensonda okuva mu magye zitegeezezza ng’ekitongole ekikessi bwe kirudde nga kibayigga oluvanyuma lwa kkampuni ya BIDCO okubatuusaako okwemulugunya kwaabwe olw’okufiirwa ensimbi empitirivu mu bbanga lya myezi esatu okutuusa lwe bagombeddwaamu obwala ku ssawa 12 ez’okumakya wakati mu kibuga Mukono, bwe baabadde nga boolekera kampala.

Bano kigambibwa nti babadde baludde nga bakolagana n’abatambuza ebinazi bya kkampuni ya BIDCO okuva ku kizinga ky’e Buvuma gye babirima nga biyitira ku kudyeri ng’olwo nga bwe batuuka ku mwalo gw’e Kiyindi, bano batikkula eby’amagendo kw’ebyo ebibeera biteekeddwa okutwalibwa ku kampuni eno e Jjinja olwo ne babissa ku motoka mu bubba ne babyongezaayo mu makubo agatamanyiddwa.

Bano babadde babiguza abantu abalala abakola ssabuni ne butto atali mu mateeka oluvanyuma era nga  embeera eno y’emu ku bisuubirwa okuvaako kanaluzaala w’endwadde ez’enjawulo mu bantu olwa butto akolebwa n’atundibwa mu bantu ku bbeyi eya layisi Kyokka nga tatuukanye na mutindo nga ne gye buvuddeko waliwo n’omuntu omu eyafa olwa butto ekika ng’ekyo.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi ya kampala n’emiriraano Patrick Onyango, akakasizza ng’abakwate bwe bagenda okuyambako poliisi okuzuula bonna abali mu kabinja kano olwo bonna bavunaanibwe ate nga zzo emotoka ez’ebinazi za kutwalibwa ku poliisi y’e Jinja nga bwe bongera okunoonyereza.

Related posts

Three lawyers Charged With Fraud at Mukono Court

OUR REPORTER

Nambooze azzeeyo mu America okujjanjabibwa.

OUR REPORTER

Uganda ejja kusigalawo ne bwe bataagiwe buyambi bwabwe.– Museveni.

OUR REPORTER

Leave a Comment