17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Ababaka ba parliament ya EALA balayizibwa.

Ababaka ba parliament y’omukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa eya East African Legislative Assembly balayizibwa leero, okutandika okukola emirimu gyabwe mu butongole.

Omukolo gw’okulayiza ababaka bano gugenda kukolebwa mu kibuga Arusha ekya Tanzania ku parliament y’omukago.

Buli ggwanga okuli Uganda,Kenya ,Rwanda Burundi Tanzania.m South Sudan ne DRcongo liweereza ababaka 9 okugikiikirira mu parliament eno, nga balondebwa babaka ba parliament z’amawanga ago.

Uganda yaweereza ababaka okuli James Kakooza ,Mary Mugyeni, Paul Musamali ,Denis Namara ne George Odongo nga bano bagenda kulayizibwa okuweereza ekisanja ekyokubiri era ekisembayo.

Abalala ye Jacklyne Among, Veronica Kadogo ne Gerald Siranda abagenda okulayizibwa okuweereza ekisanja kyabwe ekisooka ng’ababaka mu parliament eno.

Fred Mukasa Mbidde owa DP, James Opoka owa UPC saako Susan Nakawuuki abaddeyo mu parliament eyo kubwannamunigina, ebisanja byabwe ebibiri byaaweddeko era bakomekerezza obuweereza bwabwe.

Okusinziira ku tteeka erifuga omukago gwa East Africa ,eryasaawo parliament eno, omubaka waayo aweereza ebisanja bibiri byokka taddayo.

Related posts

EBOLA: Museveni alabudde abaddukira mu basawo b’ekinnansi.

OUR REPORTER

Poliisi y’e Njeru enunudde abaana basatu mu kikomera ky’omuzungu.

OUR REPORTER

Abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw’emmotoka basimbiddwa e Luzira.

OUR REPORTER

Leave a Comment