21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
Amawulire

Ababbi 8 battiddwa abatuuze mu mweezi gumu e Kibuku ne Butebo

Poliisi esanze akaseera akazibu abantu 8 abateeberezebwa okuba ababbi bwe battiddwa mu mweezi gumu gwokka mu Disitulikiti ye Kibuku ne Butebo nga entabwe eva ku babbi bano kubba  nkoko, embuzi, embaata n’endiga. Abatuuze mu bitundu bino okusalawo okwessizaawo kkooti eyaabwe nga bagamba nti ebiseera ebisinga poliisi bagitwalira ababbi be bakwatidde mu bubbi bwe bisolo kyokka n’ebayimbula ate n’ebabatigomya. Abatuuze bagamba nti ababbi bano bajoozi kubanga embuzi bazisaliraawo n’endiga ne balekawo ebyenda ne kiwandiiko nga kigamba nti ebyenda ebyo babirekeddewo ba nnannyini mbuzi nabo balyeko ate tebatya kubirya kubanga asaze ensolo eno Musiraamu. Abatuuze bagamba nti kuno kubajooga okussusse era bagamba buli gwe bakwatako balina ku mukolako. Kyokka bino bikolebwa mu budde bwa kaafyu nga poliisi erawuna. Omubbi omu yattiddwa ku kyalo Kalampete ekiri mu ggombolola ye Tirinyi mu disitulikiti ye Kibuku ono yasangiddwa ne nkoko enzibe nga azitwala mu katale e Tirinyi ate abalala babiri battiddwa ku kyalo Goligoli mu Disitulikiti ye Kibuku bano baasangiddwa n’ente 3 nga bazibbye wa mutuuze Kagweri Yafesi nga bazitadde mu ttakisi (drone) nnamba UBG 023E. Aduumira poliisi mu Bukedi North RPC Alfred Bagambaki yanenyezza abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo ne batta abantu be bateebereza okuba ababbi sso nga bandibadde babakwasa poliisi okusobola okunoonya ekibinja kubanga bangi. Poliisi yalaze abattiddwa nga kuliko Julius Komomolo 33 nga mutuuze we Saala,  Namenyi Faustino mutuuze we Nawondo mu Kibuku,  Mosingi Dauson mutuuze wa Kagumu, Andrew Onongo ne Patrick Lyomoki n’abalala. RPC Bagambaki yagambye nti abatuuze kino kye bakola okussaawo kkooti ezaabwe ne basalawo ebibonerezo tekikkirizibwa mu mateeka ga Uganda kubanga tateekeddwa kuttibwa, era yategeezezza nti omukwanaganya wa poliisi (Police Political Commuser) agenda kutambula mu Disitulikiti za Bukedi North okuli Butebo, Budaka, Pallisa ne Kibuku nga agenda asomesa abantu ku bulabe obuli mu kutwalira amateeka mu ngalo n’okukolagana ne poliisi mu kulwanyisa obumenyi bwa mateeka. RDC we Kibuku Kikomeko Mwanamoiza kino yakitadde ku poliisi ne kkooti e Kibuku engeri gye kwatamu emisango ne kiviirako abatuuze okwekyawa ne bakola ebikolwa ebibi nga bino byonna ebyo kutta ababbi mu kifo kyo kubatwala ku poliisi ne mu mbuga z’amateeka. 

Related posts

Alupo agguddewo ekkolero ly’ebyokunywa eppya ku lw’e Ntebe.

OUR REPORTER

Poliisi eggalidde omusumba agambibwa okutulugunya abaana.

OUR REPORTER

Eyasibira mukyala we mu nnyumba n’agikumako omuliro akwatiddwa.

OUR REPORTER

Leave a Comment