Abantu abatanategerekeka balumbye ettendekero ly’ababuulizi erya Grovers wilcox school of mission nga babagalidde ebijambiya n’emiggo nebakakkana ku bayizi abasoma obubuuliizi ne babakuba emiggo okukakana ng’abamu balumiziddwa.
Kiteeberezebwa nti obulumbaganyi buno buvudde ku nkaayana z’ettaka lye Nakanyonyi erikaayanirwa wakati w’abatuuze n’ekanisa.

Ababuulizi bano abalinze okutikkirwa bagamba nti obulumbaganyi buno bubalese mu kutya okutagambika, nti essaawa yonna bandirumbibwa agavubuka negabatusaako ogw’obuliisa maanyi era basabye bongerweko obukuumi.
Samuel Kamuze ne Herbert Mwene bebasinze okukubwa emiggo n’ensamba ggere ezibalese nga bonna bawulubadde.
Embeera eno ewalirizza omulabirizi w’e Mukono eyakalayira Enosi Kitto Kagodo okwetuukira e Nakanyonyi okulaba ogubadde, era n’avumirira ejoogo erikoleddwa ku banadiini.