24.2 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireEditor's PicksEssanyuFeatured

Abadde agenze okuloopa bazadde be azaalidde ku police

Omuwala ow’olubuto abadde agenze okuwawabira bazadde be olw’okumulagajjalira, azaalidde ku police.

Nabaweesi Amina ow’emyaka 18 avudde ku kyalo Katega Kabembe, wabula abadde yakatuuka ku police ye Naggalama akaana nekamusimba, bamuddusiza mangu mu kalwaliro akaliraanyewo n’akubawo ezzadde lya kaana kawala.

Abasirikale ba police nga bakulemveddwamu DPC SP SIMON Syamutsangira, bekozeemu omulimu mu bwangu nebagulira omwana obugoye n’ensimbi za Nnakawere emitwalo 91,000/=.

Asiibuddwa police nemuteeka ku kabangali yaayo n’emuzza ku kyalo gyeyavudde, kyesudde km 12 okuva ku police e Naggalama.

Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti byebazudde biraga nti omuwala ono ow’emyaka 18 yasooka nafuna olubuto nga muto n’azaala omwana, kati bweyaddamu nafuna olubuto olw’okubiri kwekumugoba ewaka.

Yaddukira ewa ssentebe w’ekyalo gyeyabeera akaseera katono naye n’amugoba, kyeyavudde asalawo okuddukira ku police awawabire bazadde be okumulagajjalira.

Nakaweesi agamba nti talabangako ku nnyina era tamumanyi, kyokka ne kitaawe tamubuuliranga bikwata ku nnyina.

Ebbanga lyonna akuze ne Jajjawe, era yeyamuweerera okutuuka mu P.6 mweyakoma, eby’okusoma naabivaako

Related posts

WONDERS: Adagchil is making access to agri-inputs for African farmers easier

OUR REPORTER

Obwakabaka bukuzizza olunaku lw’obutondebwensi.

OUR REPORTER

Abantu 4 bakubiddwa amasasi nga entabwe evudde ku mukazi.

OUR REPORTER

Leave a Comment