Abadde bwanamukulu w’ekigo ky’e Katende Fr. Richard Arthur Muwonge afudde.
Cansala w’Essaza ekkulu erya Kampala, Fr.Dr.Pius Male Ssentumbwe akakasizza amawulire g’okufa kwa Faaza Muwonge.

Ategeezezza nti ono afiiridde mu ddwaliro e Lubaga gy’amaze ennaku 10 ng’ali mu kkoma.
Fr. Muwonge yaliko omumyuka wa bwanamukulu w’ekigo Kya Christ the King Kampala era yaliko bwanamukulu w’ekigo ky’e Muduuma.
Cansala agambye nti enteekateeka endala zaakulangirirwa oluvannyuma nga ssaabasumba amaze okulung’amya.