ABADDE Akulira bannamateeka mu kibiina Kya NUP, Anthony Wameli aziikiddwa mu bitiibwa ku kyalo Bukhaweeka mu gombolola y’e Bupoto disitulikiti y’e Namisindwa.
Omukolo ogumusiibula gubadde ku kisaawe Kya Sports Ground e Namisindwa era nga wano abakulembeze kumpi bonna naddala abava ku ludda oluvuganya gavumenti bagwetabyeko.
Akulira NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu era nga y’abadde omukungubazi omukulu yayogedde ku Wameli ng’omuntu abadde takoma ku kubeera munnamateeka wabula abadde muganda we gw’asobola okwesigisa buli kyama kye era amusaaliddwa nnyo.
Ono era yategeezezza nti bannamateeka bangi mu ggwanga naye batono abasobola okulemera ku nsonga nga Wameli bw’abadde okutuusa lw’afudde

Kyagulanyi, asabye bannamateeka abasigaddewo okwongera okulwanirira eddembe ly’obuntu nga Wameli bw’abadde .
Namwandu w’omugenzi, Olive Wameli yatenderezza bba olw’okububeera taata w’abaana omulungi ate ng’abadde mukwano gwe era amulaze omukwano okumala emyaka 16 gye bamaze nga bali bombi.
Maama wa Wameli Betty yeebazizza buli amuyambyeko okulaba ng’omwana we awona wadde nga Mukama asazeewo amutwale .
Omugenzi Anthony Wameli yazaalibwa nga August 29, 1978 ku kyalo Bukhaeeka mu Ggombolola ye Bupoto mu disitulikiti ye Namisindwa . Yafiiridde mu Amerika gye buvuddeko gye yali yatwalibwa okujjanjabibwa.