21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireEbyobusubuzi

Abadde ssentebe wa Ddisitilikiti ye kayungu assangiddwa ku muguwa nga alengejja

Ffeffeka sseruboga Muhammad musajja wa kabaka nga mukiise ku lukiiko e mengo asangiddwa kumuti nga alengejja nga affude kigambibwa nti abadde yenyigidde nyo mukulwanyisa ekiba Ttaka mubitundu byekayunga gyabadde akulembera nga ssentebe wa disilikiti, kayunga amanyiddwa nyo mumivuyo gyettaka naddala mubitundu bye galilaya wamu nemumagombolola amalala  kinajukirwa nti omubaka omukyala owa kayunga eriyosi Aidah Nantabba kiteberezebwa nti naye bamwegezamu okumukuba amasasi ye bagamba nti balwanyisa obutatwala ttaka lyabantu kyagamba nti alwanyisiza kiba ttaka mu kayunga naye nga atisibwa ttisibwa abamu ku banene mu gavumenti era kigambibwa nti ekayunga bantu bangi basenguddwa kuttaka nebasigala nga naw’okulimirila tewakyali ekireeted abantu okugwamu enjala eyamanyi nabanddi okusigala nga nawokulundira tewakyali . ekituufu ekyokwetuga kwa ffefeka kukyatankanibwa abafamile nga bwebagamba nti omuntu wabwe teyetuze nga bwekyasangiddwa nga alengejja kumuti gwa ffene wabula bbo bagamba yandiba nga yatiddwa bamutamanyangamba oluvanyuma ne bamusiiba kumutii omulambo okulengejja basobole okubuzza obujjulizi. Kinajukirwa nti musajja wakabaka ono ate nga abadde mukiise  mukiiko e mengo abadde nyo mubyobuffuzi byawano eyuganda okumaliladdala akabanga wabula abadde taffunangako mukisa kufuna kifo nga ayiise mukalulu kabonna nakawangula era abadde amanyiddwa nyo nga munakiibina kya democratic party DP Kyabadde amazzemu akabanga akawera wabula omuyaga gwa pipo pawa bwegwajja negweyubula n’ekibiina kya NUP national unity platform abasing abali aba DP ne bade mu pipo pawa oba kiyite NUP. ERA WANNO WEYAFUNIRA OMUKIISA okukwatira NUP kadi yekibina ekyo era katonda namujjukira kuluno nawangula ekifo kya ssentebbe wa district ye kayunga okwali okuvuganya okwamanyi okwalimu ne muna NRM oludda olwo omwami kalangwa. Kijukirwa bulungi nga ssentebbe wa NRM mukayunga omw.kalangwa nga bwabadde mumbiranye eyamanyi nebanabyabufuzi naddala kuludda olwo olwekayunga era abasing bamwasimula bugoolo nga omubaka omukyala owa kayunga Hon. ERIYOSI AIDAH NANTABA amanyiddwa enyo nga maaama kayunga bwebasinga ennyo okubeera kumbiranye Omugenzi ffeffeka sserubogo okusinzira kubatuze mukayunga bagamba omugenzi yasembye kulabwako kawungeezi ka lwakubiri nga aliko abantu abamu babadde agezzako okutawulula ku mbilanye yetaka nga waliwo abagaga ababadde basindikiriza abatuuze abamu ku ttaka so ye agamba yajja kulwanirila muntu wawansi alemwe kugobwa kuttaka era nga kyekisubizzo kyeyawa abekayunga nti agenda kubalwanirira. Ffefeka sserubogo kati omugenzi azze yesimbawo emirundi egiweera naddala mu disitikiti ye mukono kukiffo ky’o bwa meeye bwekibuga ku kaddi ya democratic party wabuula natafuna mukisa kuyitamu mubisanja ebyenjawulo naye kwekusalawo akyuse obuwuufu adde ewabwe kubuttaka gyaba yetayiza mubyobuffuzi era wafiridde nga Entebbe yakagimalamu ennnaku ntono nnyo okuva lweyalayira jjo lyabalamu nga ssentebbe wadisitrict ye kayunga omujja

Omwo gw’omugenzi omukama aguwumuzze mirembe era ne mungu amusonyiwe ebyamusobako

Related posts

Eyayingidde ekikomera n’atema omukozi ejjambiya asindikiddwa e Luzira.

OUR REPORTER

HOW WE CAN REDUCE BUS RELATED ROAD ACCIDENTS – BY WANZALA RICHARD SSALONGO.

OUR REPORTER

Bano abasambi okwata ku kirala, n’otakwata ku mbwa zaabwe.

OUR REPORTER

Leave a Comment