Wadde ng’embeera y’ebyenfuna buli olukya eyongera kwekanama ng’akasente kongera kwekubya bantu mpi byo Bimaama by’e Lukaya mu Kalungu tekibirobera kusanyuka.
Ebimu ku byana bino byambala obugoye bukamiimo mu ngeri y’okusomooza abasajja olwo ne birumbisa na mutima mu bifo ebisanyukirwamu.

Mu ndongo eyabalukidde mu kifo ky’amasanyu ekya NANA Hotel Gardens Lukaya ku wiikendi byabadddeyo nnyo nga byerigitira ng’ennyana.
Waliwo ebyatengudde abavubuka ne babibinusaamu so ng’ebirala byebinusizza byokka ng’ebimu bakira bwe byekuba obufaananyi bwa ‘serefi’.
Bakira bizina bwe byesoma okukiza abalala waaka.