17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abagambibwa okubba bodaboda basindikiddwa e Luzira.

ABASAJJA babiri basindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga May 4, 20223 ku bigambibwa nti benyigira mu bubbi bwa Bodaboda bbiri.

Isaac Mutebi 45 mutuuze w’e Nakirebe mu Mpigi ne Musa Nsimbe 34, makanika abeera Nateete mu Lubaga be basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo Omulamuzi Amon Mugezi n’abasomera omusango gw’okubba ekidduka.

Kigambibwa nti nga March 18, 2023 e Mutundwe ku kyalo Wabiyinja bano beekobaana ne babba Pikipiki Bajaj Boxer UFB 894E eya Mansoor Mugerwa ebalirirwamu obukadde 5,000,000 ne UFB 298M eya Enock Muhwezi nga eno ya bukadde 3,500,000.

Omusango baagwegaanyi wabula olw’okuba tebaabadde na babeyimirira, omulamuzi Mugezi yabasindise e Luzira okutuusa omusango lwe gunaatandika okuwulirwa

Related posts

Aba NUP abaakwatibwa mu kalulu ka 2021 baziddwayo ku alimanda.

OUR REPORTER

Ensonga lwaki abasajja baagala nnyo abakazi abawemulira mu kitanda

OUR REPORTER

Ab’amakomera bannyonyodde -Minister Kitutu tanazira mmere.

OUR REPORTER

Leave a Comment