17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abagambibwa okubba emmwaanyi basindikiddwa Luzira.

ABASAJJA basatu abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw’emmwanyi ttani ezisukka mu ssatu basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo, omulamuzi Adams Byarugaba abasomedde ogw’obubbi n’abasindika ku limanda okutuusa nga May 10, 2023 gutandike okuwulirwa.

William Matia Busaala 30, akola gwa bwa kayungirizi bw’emmwanyi mutuuze wa Kabaawo zzooni mu Lubaga, Moses Mbonigaba 45 ne Stephen Kaseera 47 bano bakola gwa bw’Asikaali ku kyuma ky’emmwanyi be bavunaaniddwa emisango esatu okubadde ogw’obubbi, okwekobaana n’ogwobulagajjavu ekikontana n’amateeka.

Kigambibwa nti bano wakati wa August 2022 ne March 16, 2023 e Nalukolongo ku Karaz Coffee Factory beekobaana ne babba ttani z’emmwanyi ssatu n’ekkiro 880 ezibalirirwamu obukadde 40 n’emitwalo 90 ezaali eza Fred Ndebera.

Mbonigaba ne Kaseera bano abaali abakuumi ku kyuma ky’emmwanyi kino era bavunaaniddwa ogw’okufuna emitwalo 150,000 okukkiriza obubbi buno ne bugenda mu maaso.

Emisango gyonna bagyegaanyi wabula Caroline Mpumwire omuwaabi wa Gavumenti yategeezezza nti okunoonyereza ku kyagenda mu maaso n’asaba kkooti eyongezeeyo omusango okutuusa ng’akunganyizza obujulizi olwo gutandike okuwulirwa.

Bano baasabye okweyimirirwa naye Omulamuzi Byarugaba yakigaanyi n’abasindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga May 10, 2023 guddemu.

Related posts

Lwaki Oluganda lugattiddwa ku nnimi ezikozesebwa omukutu gwa ‘Google Translate’?.

OUR REPORTER

Abasibe 1033 bebakawebwa ekisonyiwo.

OUR REPORTER

Owek. Bwanika akuutidde abazadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

OUR REPORTER

Leave a Comment