POLIISI ekutte omusajja n’omukazi b’erudde ng’enoonya olw’okukozesa olukujjukujju ne bafuna ssente obukadde 4 okuva ku musuubuzi nga bamulimbye nga bwe baabuguzizza amayinja ag’omuwendo aga diamond wabula ne bamuwa ebintu ebyefaananyiriza.
Shafik Buya Zumbula ne Sofia Ampereeza ababeera e Nansana be bakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okubanoonyeza akabanga oluvannyuma lw’okuyingiza omusuubuzi ddiiru y’okumuguza abayinja ga diamond ne bamuggyako obukadde 4.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Zumbula ne Ampereeza baliko omusuubuzi gwe batuukirira mu July 2023 ne bamuguza amayinja nga bamulimbye nti ga diamond na bwa ssente wabula n’akizuula nti baamuwaamu ebyefaananyiriza ekyamuviirako okugenda ku poliisi ya CPS n’aggulawo omusango.

Yagambye nti Zumbula ne Ampereeza okubakwata poliisi yeeyambisizza kkamera zaayo ez’oku nguudo ezaabakesse okuva gye babeera e Nansana n’emmotoka mwe baabadde batambulira nnamba UAG 530Z ne babakwatira e Nakulabye oluvannyuma ne batwalibwa ku CPS wabula nga mu kubakwata baasoose kuteekawo olutalo abaserikale ne bakozesa obukugu ne babanyweza.
Yategeezezza nti omusuubuzi gwe baggyako ssente baamusisinkanira ku ssundiro lya mafuta erimu ku Kampala Road era nga ddiiru bagikutulira mu mmotoka.
Zumbula ne Ampereeza baatwaliddwa ku poliisi ya CPS awali ffayiro y’omusango nnamba SD 41/18/07/2023.