22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abagambibwa okulumba amasomero basindikiddwa e Luzira.

Kkooti e Matugga esindise abavubuka 5 mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okusomerwa emisango 17 egyekuusa ku bulambaganyi bwa masomero obuzze bubaawo wakati wa February ne April omwaka guno.

Bano okuli Babu Yusuf, Regan Mawejje, Mayengo Paul ne Denis Egesa baleeteddwa mu kkooti e Matugga nga bali ku njegere. Babasomedde emisango omuli okulumba ekigo kya bafaaza enswanjere ne banyagulula n’okukuba ba faaza emiggo.

Bavunaaniddwa emisango okuli ettemu,okubbisa eryanyi n’emirala wabula ne bategeeza kkooti nga bwe batulugunyizibwa era babakaka okukkiriza emisango.

Omulamuzi Nakibinge Abubakar owa kkooti y’e Matugga bano abasindise ku limanda e Luzira okutuusa nga May 23, 2023.

Related posts

Kitalo! Agambibwa okubba amasannyalaze gamusse.

OUR REPORTER

Omwami wa ssabasajja mu ssaza ly’e Bugisu atuuziddwa

OUR REPORTER

EBOLA: Pulezidenti Museveni atabukidde bannayuganda.

OUR REPORTER

Leave a Comment