ABAVUBUKA babiri abagambibwa okumenya emu ku saluuni mu Katanga ne babbamu masiini ne Generator basindikidwa mu nkomyo mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okusimbibwa mu kkooti ne begaana emisango.
Ashraf Kawesi 20 omutuuze wa Kimwanyi – Katanga mu munisipaali ye Kawempe nga muvuzi wa boda ne Aramanzani Mugabi 20 omutuuze wa Kazo nga akola gwa butembeyi y’asindikiddwa mu kkooti ya LDC e Makerere maaso g’omulamuzi Marion Ninsiima ne basomerwa emisango eibiri egy’ekuusa ku bubbi.

Kigambibwa nti nga April 22, 2023 mu Kimwanyi Wawesi ne Mugabi baamenya ssaluuni ya Mark Kiyingi n’ekigendererwa eky’okubba.
Omusango ogw’okubiri oludda oluwaabi lwategeezezza kkooti nti nga April 22, 2023 ababiri babba masini z’enviri 5 ne Generator ekika kya Honda nga zibalirirwamu sente 1,450,000.
Bano emisango bagyegaanyi omulamuzi n’abasindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga May 24, 2023 oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okutegeeza nga okunonyereza ku musango bwekwawedde.