Abasajja bana abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw’emmotoka basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Omulamuzi Adams Byarugaba n’abasomera ogw’obubbi, abasindise ku limanda e Luzira oluvannyuma lw’okugaana okusaba okweyimirirwa kwabwe.

Daud Kisitu 40, abeera Kiwuunya zzooni e Masanafu, Lauben Lukambuzi 28, Hamuza Wenenge 25 bano baddereeva nga batuuze b’e Ganda e Nansana, ne Ssaalonga Kisiga Saka 40 abeera Nakulabye be bavunaaniddwa omusango guno.

Kigambibwa nti abasajja bano nga April 1, 2023 mu Kigagga Zzooni e Mutundwe mu munisipaali y’e Lubaga, babba emmotoka Toyota Noah UAV 846K eya Brian Bbaale ebalirirwamu obukadde 25.
Omusango baagwegaanyi wabula ne basaba kkooti ekkirize abantu baabwe okubeeyimirira naye omulamuzi Byarugaba n’akigaana n’abasindika e Luzira okutuusa nga May 30, 2023 gutandike okuwulirwa.