Ba ddereeva 21,656 bebakwatiddwa police y’ebidduka, olw’okutyoboola amateeka gokunguudo, omuli okuvugisa ettamiiro, obutaba na bisaanyizo bimala n’ensonga endala nyingi.
Abantu abasoba mu 160 bebafiiridde mu bubenje obutali bumu okuva nga 1 December,2022 okutuuka leero,nga obubenje obusobye mu 700 bwebuwandiisiddwa mu police ezenjawulo.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu,Omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima agambye nti ebikwekweto eby’amaanyi byongeddwa ku nguudo ezenjawulo, ekiro n’emisana.
Nampiima agambye bamaze okuteekawo abaserikale abatalina byambalo, abagenda okulinnya bus ne taxi nga balawuna enguudo ez’enjawulo okuzuula abavugisa ekimama.
Nampiima agambye nti bakizudde ng’abagoba b’emmotoka bavuga balondoola abasirikale ba police, bwebatuuka mu bitundu mwebatali nga bavugisa ekimama ekireetedde n’obubenje okweyongera.