Kooti yámagye e Makindye ekalize abajaasi ba UPDF 2 bakwebaka mu nkomyo emyezi 9, balangibwa kusaasaanya kalebule.
Abakaligiddwa ye Lance Corporal Apollo Bigirwa,owékibinja ekyokubiri mu Mbarara District ne Pte Stuart Nuwahereza owékibinja ekyokusatu e Karamoja.
Kooti eno ekulemberwa Brig. Freeman Robert Mugabe etegezezza nti ababiri bano babawadde ekibonerezo ekisaamusaamu olwókuba nti tebajimalidde budde.

Abajaasi bano bavunaanibwa wamu ne munna NUP Anthony Agaba amanyiddwa nga Bobi Young omu ku bakuumi ba president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Bobi Young emisango agyegaanye nazzibwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 06 March lwanazzibwa mu kooti esalewo ekiddako.
Kigambibwa nti abasatu bano ngénnaku zómwezi 20 January,2023 nga basinziira mu district ye Kazo, Mbarara ne Kampala, baasaasaanya obubaka ku mikutu egyénjawulo nga balumiriza eggye lya UPDF ne government obutasasula bajaasi abasindikibwa e Somalia.