24.2 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireEditor's PicksEssanyu

ABAKARAMOJA ABABBA ENTE BASSE BALUMBYE ABASEBEI NE BABBA ENTE EZIWERA NE BATTA N`OMUKADDE OWE 90

ABAKARAMOJA ABABBA ENTE BASSE BALUMBYE ABASEBEI NE BABBA ENTE EZIWERA NE BATTA N`OMUKADDE OWE 90

Bya Musasi Waffe

Ekibinja kya Bakaramoja ababbi be nte balumye ekyaalo Soi mu district ye Kween ne babba ente ezisoba 150 ne mbuzi ssaako okutta n`omutuuze Musobo Kapsosi 90, kino kitabudde abatuuze nga bakulemberwaamu ababaka ba palamenti abe kitundu ekyo okuli Chemaswet Kisos ne William Chemonges ne batuuza olukiiko lwe by`okwerinda olwetabiddwaamu abakuumaddembe okuli amagye ne poliisi ekuuma ebisolo ebirundibwa bannyonnyole lwaaki obulumbaganyi ekika kino bweyongedde mu kitundu kyaabwe, abatuuze bagambye nti mubbanga lya myeezi 2 bafiiriddwa abantu 10 nga bakubwa masasi na Bakaramoja ababbi be nte. Ababaka na batuuze batadde amagye kunninga nga bagamba nti balemeddwa okubakuuma  ne bisolo byaabwe ne bitwaalibwa Abakaramoja, abatuuze batuuse n`okusaba amagye gabakkirize beekolemu eggye lyaabwe basobole okwekuuma kubanga obusobozi obwekuuma babulina, mwatusuubiza okutukuuma naye obulumbaganyi n`okutwaala ebisolo byaffe kweyongera.

Maside Rajab omu ku batuuze eysimattuse okuttibwa yagambye nti sabbiiti ewedde yalumbiddwa ababbi bente abaabadde ne mmundu ne batwaala ente ze 20 ne mbuzi ne bagezaako okumutta nga basasira amasasi mu nju oluvannyuma lwo kuwulira nga yali aggulawo, era yayita ku lugwaanyu.

Ssentebe wa LC5 e Kween Chelogoi Geoffrey yagambye nti abaatemudde muzeeyi bamaze dda okukwaatibwa nga balinze kuvunaanibwa. Abatuuze abaabadde abakambwe baategeezezza amagye nti tebagenda kuziika munnaabwe eyatemuddwa ababbi be nte okutuusa nga baweereddwa ente 120 okuva mu be nnganda za batemu. Brig. Joseph Balikuddembe aduumira ekibinja kya 3rd Division e Karamoja yagumizza abatuuze nti amagye gagenda kwongera amaanyi mu bikwekkwetto byaago okussa obutebenkevu mu kitundu kino, yagambye nti mu mwaaka 2021 ente ezisoba mu 8000 zabbibwa okuva mu kitundu kino kyokka amagye mu bikwekkwetto byaago gasobodde okununula ente 20,000 okuva mu bitundu ebyenjawulo, kuno kwossa emmundu 155 ze banunudde okuva mu Bakaramoja, kale nabasaba obutaggwaamu ssuubi. Yabategeezezza nti bagenda kwongera ku bungi bwa magye era nga tewali wadde eddiba eribbibwa.   

Related posts

FDC  ewadde Pulezidenti  amagezi okulonda Gavana wa bbanka enkulu ebyenfuna okutereera.

OUR REPORTER

Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekya 2024 kitongozeddwa.

OUR REPORTER

Munnabyamizannyo  Mutebi aziikiddwa.

OUR REPORTER

Leave a Comment