Abakristaayo bakubiriziddwa okufuba okubeera n’enkolagana eri Katonda ate nga ya bibala birungi kibasobozese okubeera abawanguzi mulutalo olw’omwoyo ate n’okukola ebyo ebibalijjukirwako nga bavudde mubulamu bw’ensi eno.
Okukubiriza kuno kukoleddwa Omulabirizi w’eMukono ,Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala mukusaba kw’okusako abaana 96 emikono ku Kkanisa y’Omutukuvu Mataayo Ngogwe Baskerville ku kitebe ky’Obussaabadiikoni bw’eNgogwe n’okusiibula abakristaayo b’Obusumba bw’eNgogwe ,okuttikira abayizi abasoba mu abiri(20) nga bakuguse mu Events Industry Development ng’ono ayaniriziddwa Ssaabadiikoni Ven Stephen Kironde,Abasumba, President w’abaami Abakristaayo mu Bulabirizi bw’eMukono Herbert Ssenfuma ne Milly Nakirya President w’abavubuka mu Bulabirizi buno ate nga ya ow’eKkanisa ya Uganda ,Ababuulizi ,Abakubiriza,Abakulu b’amasomero n’abantu ba Katonda bonna.
Amyuka Omusumba w’Obusumba buno,Rev Samuel Kakooza Ssaalongo abuulidde Omulabirizi Ssebaggala okusoomooza kwebayiitamu okusinga amakubo amabi,abalala banyigirizibwa olw’obwavu omuli n’enjala ate n’okuwandiisa amakkanisa era n’obutaba n’amazi mukitundu.

Bw’abadde asiibula Abakristaayo b’eNgogwe, Bishop Ssebaggala bano abakubiriza okufuba okubeera n’enkolagana eri Katonda ate nga ya bibala birungi kibasobozese okubeera abawanguzi mulutalo olw’omwoyo ate n’okukola ebyo ebibalijjukirwako nga bavudde mubulamu bw’ensi eno.
Okusaba kuno kwetabiddwako Omwami wa Kabaka Ssaabagabo Kimera Rashid ow’eGgombolola lya Ssaabagabo Ngogwe akalatidde abazadde okufuba okukuliza abaana mumpissa ez’okutya ne bwebaliba bakuze tebalirivaamu era n’asaba abaweereza okukola ennyo omulimu gwa Katonda kubanga okufuba kwabwe si kwa bwerere.
Ye Aine Berity nga yakulembeddemu okusomesa abantu bano eby’emikono alaze okusoomooza kwebasanze mukusomesa abantu bano kubanga bangi tebamanyi webatandiikira kyokka nga Gavumenti tebalinako nga n’abamu bebano abalemererwa okusoma n’olwekyo balowooza okukendeza ku bwavu obuli mubyalo.