14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abakristu banyenyezza amatabi mu Eklezia ez’enjawulo.

Abakristu bangi beetabye mu kunyenyenya amatabi mu Eklezia ez’enjawulo.

Ku kiggwa ky’Abajulizi e Munyonyo Abakristu bakulembeddwa embalasi eyabaddeko omuyimbi ng’alaga engeri Yezu Kristu gye yayingiramu Yerusaleemu.

Abakristu bangi babadde bamugoberera nga bwe bagenda basaakanya ennyimba ezigulumiza Omukama.

Ate ku kigo ky’Omutuukirivu Padre-Pio e Kabulamuliro, ennyiriri bazitandikidde ku kizimbe kya Voice Mall Hotel e Bwebajja ne bagenda nga  batambula nga bwe basaakanya ennyimba ez’enjawulo.

Abakristu bazibye oluguudo okumala essaawa nnamba n’okusoba, era emmotoka ezibadde ziva e Kampala zibadde tezirina we ziyita okugyako okubalinda bagende mu maaso nga bwe bakuumibwa abapoliisi erudda n’erudda.

Kyokka bbo ababadde badda e Kampala babadde balina okulinda ebbanga eriwerera ddala okulaba nga tebatomera bantu. Batambudde kiromita ttaano n’okusoba. 

Related posts

Besigye awadde ensonga 3 eziyinza okubbulula FDC.

OUR REPORTER

Hajati Namyalo amezze Gashumba.

OUR REPORTER

 Mu June Kabaka wa Belgium ne Nnaabakyala baakukyalako e Dr. Congo.

OUR REPORTER

Leave a Comment