Abakulembeze b’e Mukono bakubaganye empawa ku nsonga ya kasasiro avuddeko ekibuga n’ebitundu by’e Mukono ebitali bimu okukyafuwala olw’abantu abasazeewo okumansa buli we basanze.
Mu lukiiko olutuuziddwa mu ofiisi ya mmeeya w’ekibuga kino Erisa Mukasa Nkoyoyo, olubadde lwetabyemu omubaka wa munisipaali eno Betty Nambooze Bakireke, mmeeya n’omumyuuka we William Makumbi ne bakkansala abakiikirira ebitundu eby’enjawulo, bano bakaanyizza ku nsonga ya munispaali okukwasizaako kkampuni ezaaweebwa ttenda y’okuyoola kasasiro era ng’emotoka olwaleero zirabiddwaako nga zitandise omulimu guno.
Omubaka era asabye okuweebwa ebbanga addemu okwekenneenya endagaano za kkampuni zino ezaapatana ttenda y’okuyoola kasasiro okuli eya DE BIN n’eya DE WASTE ezaakaddizibwa obuggya naddala ku nsonga y’ensimbi empitirivu ezigambibwa nti baaziggya ku bantu okubayoolera kasasiro, ezitali mu ndagaano eyakkaanyizibwaako.
Ye mmeeya Erisa Mukasa Nkooyoyo asabye bakkansala bano okukolaganira awamu nabo ng’abakulembeze ab’oku ntikko okumanya ensonga eziruma abantu basobole okuzikolako okusinga okubakumamu omuliro okwagala okwegugunga.