24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Abakulu b’amasomero e kayunga banyiivu olwa Gavumenti okubasuuliirira

Abaddukanya amasomero ag’obwanannyini e Kayunga banyiivu eri abakulira ekitongole ky’ebyenjigiriza ku disitulikiti olw’obutabakwatizaako bwe babeera bakiikiridde disitulikiti mu bintu eby’enjawulo omuli emizannyo, okuyimba n’ebirala.

Akulira essomero lya Bright Light Kisoga Primary school Aggrey Nabong agamba nti essomero lino likyatubidde mu mabanja ge baalya bwe baali bakiikiridde disitulikiti mu mpaka z’okuyimba, katemba n’amazina ez’eggwanga lyonna e Masaka.

Nabongo agamba nti mu ggwanga lyonna baakwata ekifo kyakuna ne bawanika bbendera ya Kayunga wabula disitulikti bweyasuubiza okubayamba kyakoma mu bigambo.

Nabongo agamba nti bakyabanjibwa ebbanja lya bukadde obusoba mu buna (4.3M) nga zino baazisaasaanyiza mu kulya kw’abaana n’entambula okugenda e Masaka.

Nabongo agamba nti disitulikiti yasuubiza okubadduukirira wabula byonna yasuubiza mpewo era n’awanjagira gavumenti eyambeko amasomero ag’obwanannyini okutumbula ebitone by’abaana.

Related posts

KITALO! Abantu 9 bebafiiridde mu kabenje , abalala bataawa.

OUR REPORTER

Amerika ekutte Misiri n’ebikompola 40,000 by’ebadde etegeka okuwa Putin.                                               

OUR REPORTER

Eby’omuwala eyattiddwa omuyisirayiri biwanvuye.

OUR REPORTER

Leave a Comment