24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abakyala abajjuvu bakoze SACCO

Bya Drake Ssentongo

KIBOGA

Chistine Kaaya Nakimwero omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Kiboga mu paliyament abakyala baayo yabakozeemu omulimu ne batandikawo SACCO emanyiddwa nga Kiboga Women Savings and Cooperative Society Ltd (KIWOSA).

Nakimwero (ku ddyo) ng’ayajula bba eri KIWOSA

Banno bagguddewo ofiisi za KIWOSA mu kibuga kye Kiboga ku mukolo ogwasombodde abantu omwabadde n’ababaka mu paliyament abawerako naddala okuva mu kibiina kya NUP.  “Eno SACCO ssi ya NUP wabula y’abakyala bonna abawangalira mu Kiboga,” bwatyo omugenyi omukulu era omubaka omukyala owa Kassanda, Flavia Kalule bwe yategeezezza.

“Tubiddwa nnyo mu bibiina ebiwerako naye kino omubaka mwali kitukolera,” bwatyo omukyala omu bwe yayogedde.  Nakimwero ye muyima wa KIWOSA era omubala gwabwe guvuga nti ‘Omukyala omujjuvu’.

Related posts

EKITUUFU EKISUDDE GOLDEN BAND,Ebya Mesach Ssemakula okuva mu Golden Band Birimu eddogo

OUR REPORTER

Ssaabawandiisi wa NACOTHA afudde.

OUR REPORTER

Omuliro gukutte ekisulo ky’essomero lya Green hill junior school.

OUR REPORTER

Leave a Comment