14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abakyala boogedde ku kitabo kya Nnabagereka.

ABAKYALA abenjawulo batenderezza Nnabagereka Sylivia Nagginda olw’okuvaayo n’awandiika ekitabo ekikwata ku bulamu bwe ne bagamba nti nabo kibawadde ekyokuyiga.
Josephine Kasaato akulira Mothers Union mu Buganda yeebazizza Nnaabagereka olw’okuwandiika ekitabo ekiyigiriza abaana abawala abatannafumbirwa, abali mu mukwano n’abali mu bufumbo ku ngeri y’okweyisaamu. Ekyokuyiga ekirala yalaga nti Katonda ky’aba yasalawo tewali ayinza kikikyusa kuba yayita mu bingi okufuuka

Maama wa Buganda. Rosemary Nansubuga Sseninde, ssaabakunzi wa NRM yagambye nti, ekitabo kirina ebyokuyiga eri abakulembeze n’engeri omuntu gy’asobola okutambulira mu nkulaakulana nga tavudde ku buwangwa bwe.
Yagambye nti Nnaabagereka kye yakoze kya kukuuma omukululo gwe n’abaliddawo bamujjukire olw’ebyo nga tebikyusiddwa.
Florence Bagunywa Nkalubo eyaliko minisita w’abavubuka e Mmengo yagambye nti yakwatiddwaako nnyo kuba abantu bangi abalina bye bakoze abafa ne bazikirira nga tewali
asobola kulondoola bye baakola.
Ekimu ku kyokuyiga ekiri mu kitabo kwe kuyigiriza abantu engeri gysobola okwekulaakulanya nga tolinnyiridde nnono n’obuwangwa

Related posts

Bannayuganda abawangaalira ebweru  Nnaabagereka aba tegekede Ekisaakaate.

OUR REPORTER

AMAZZI GASANYIZZAAWO ENTINDO SSATU MU

OUR REPORTER

Abadde bwanamukulu w’ekigo ky’e Katende Fr. Richard Arthur Muwonge afudde.

OUR REPORTER

Leave a Comment