ABAKYALA babuuliriddwa okulwanirira eddembe lyabwe n’okwerwanako okuva emabega n’okufaayo okugujjula abaana baabwe n’okubaweerera.
Bino bibabuuliriddwa mu lukungaana lw’abakyala olwategekeddwa ku Busumba e Mwereerwe ng’olukugaana luno lwategekeddwa ekkanisa ya Uganda awamu n’e Eklezia eby’e Mwereerwe mu ggombolola y’e Gombe era nga beegattiddwako abakulembeze okuva mu ggombolola y’e Gombe ne disitulikiti y’e Wakiso.
Rev. Nathan Mugalu akulembeddemu olukungaana luno ategeezezza nti oluvannyuma lw’omuwendo gw’abawala abakabanyisibwa okweyongera nga kati abawala 1,000 be bafuna embuto buli lunaku mu nsi yonna era nga n’abakyala 8 ku bakyala 10 be batulungunyizibwa abaagalwa baabwe ,nabo basazeewo okuteekateeka olukugaana okulwanyisa okutulugunya kw’abakyala.
Ategeezezza nti okutulugunya abakyala kwa njawulo nga mulimu: okwekuusa ku by’omukwano, ebyensimbi, okumibwa emirimu erwekikula kyabwe, okw’okuzaala n’okulala.
Abuuliridde Bannayuganda okubaako kye bakola okuggyawo okutulugunyizibwa kuba omukyala atulugunyizibwa tayinza kukola bintu bisanyusa maka ge awamu n’abaana be.

Abuuliridde abakyala nti buvunanyizibwa bwabwe okukuuma emirembe ngakino balina okukikola ngabatukiriza obuvunanyizibwa bwabwe wadde ngawaliwo omwenkanokwano kubanga eggwanga ne kkanisa bizimbibwa ku maka agateredde.
Ate ye Fr. James Matovu ow’Ekigo ky’e Mwereere yabuuliridde abakyala okufaayo ennyo okubuulirira abaana baabwe baleme okukyamizibwa abakyamu abayingira mu masomero ne babatendeka ebikolwa ebikyamu.
Ate ye CDO, Omumbejja Dorah Zalwango CDO akulira ebyenkulaakulana mu ggombolola y’e Gombe leero abuuliridde abakyala okukomya okuteesa n’abasajja abakaka abaana baabwe akaboozi k’ekikulu wabula babatwale mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.
Ayongedde n’abuulirira abakyala okuwa abaami ekitiibwa wadde nga baabakkiriza okukola era yabakuutidde okuyamba ku baami baabwe okuweerera abaana batoole ku z’ekikazi nti nsinga abaana banaabalekerera era kijja kusinga kukosa bbo nga bamaama baabwe.
Lydia Namiiro, amyuka meeya we Gombe avumiridde abasajja abafuuka ebifaanannyi mu maka gaabwe nga tebakyafaayo kyokka ne bateeka ssente ennyingi mu bakazi be bafuna ebbali w’obufumbo.