Abakyala abakolera mu katale ka Kame Valley akasangibwa mu masekkati ga munisipaali y’e Mukono balayidde obutasula mu katale kano oluvannyuma lw’abaami baabwe kubaddukako ne babalekera abaana mu muggalo ogwasooka nga babalanga okufuula akatale loogi.
Abasuubuzi bagamba nti mu muggalo ogwasooka baasula mu katale oluvannyuma lw’okubasuubiza obutimba kyokka nebatabulabako ekyabaviirako okulwala emisujja nga zebaali banoonya tebazifuna olwa bakasitoma okwesala.
Bano okutuuka okugaana okusula mu katale kyaddiride Omubaka wa pulezidenti (RDC) mu disitulikiti y’e Mukono Fatuma Nabitaka Ndisaba okuwa nsalessale wa nnaku ssatu nga bakutte emigugu gyabwe okusula mu katale nga omukulembeze w’eggwanga bwe yalagira oba okukaggala. “Luli twasula mu katale abasajja nebatuddukako tutusobola ku kasulamu nga n’obutimba tebanabutuwa” abakyala bwe batyo bwebategeezezza.
Kabagenyi Tracy omusuubuzi w’amatooke mu katale kano ngamba nti ekibagaanye okusula mu katale ge masannyalaze n’amazzi ag’obulumi nga n’akatale tekakyalimu ssente. “Tetuganye kusula mu katale naye basooke batereeze amazzi n’amasannyalaze saako n’obukuumi mu katale awo tugya ku kasulamu.” Bwatyo Kabagenyi bwe yategeezezza.
Bano Ndisaba yabalabude nti bakukifuuwa nga bakizza munda kubanga singa tebagoberera biragiro bya mu kulembeze bye yabalagira alina olukusa okulagira akatale kaggalwewo bwekiba nga kye kinaayamba okuza embeera mu nteeko.
RDC yabadde alambula akatale kano n’akizuula ng’abasuubuzi mu katale eby’okwambala obukookolo, okwewa amabanga n’okunaaba mu ngalo nga babade baabivaako dda nga n’amabbaala mu katale tegaggalwanga ekintu ekyamugye mu mbeera n’abategeeza nga bw’agenda okuggala akatale.
Ndisaba yategeezeza ng’ekirwadde kya Covid-19 bwe kyeyongedde okusaasaana mu bantu mu disitulikiti y’e Mukono ng’okusinga kitambulira ku ssente abasuubuzi ze bakwata. Ono yennyamide olw’engeri bano gye babifudde eby’okubalaata nga balowooza nti tasobola kubaggalawo olw’okubanga munnamukono munnaabwe.
Ye ssentebe wakatale kano Geofrey Sserunjogi yegayiride RDC obutaggalawo katale wakiri abakkirize bakole nga bwe beetereeza.
Disitulikiti y’e Mukono y’emu ku zisinze okukosebwa ekirwadde kya Covid-19 kyokka abantu naddala mu munisipaali eno bakyagaanye okussa ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga mu nkola okusobola okwentaangira ekirwadde kino.