Abalamazi abaatambuzza ebigere okuva mu Bulabirizi bwa Ankole batuuse e Lukaya nga boolekera ekiggwa ky’abajulizi e Nakiyanja-Namugongo.
Jackson Makungu abakulembeddemu ategeezezza nti baasimbulayo abantu 70 omuli n’omukadde ow’emyaka nga we batuukidde e Lukaya bonna bakyali bulungi.
Agamba nti munnaabwe omu yekka gwe baabikidde mutabaniwe ng’afudde n’addayo, kyokka ng’abalala balina essuubi nti bajja kulituusa e Namugongo.
Okuggyako omusana ogwaka ennyo naye awasigadde tebasing’anye buzibu bwonna mpozzi okukoowamu ng’ebyo bya bulijjo.
Ekirala obulwadde obutonotono bagula eddagala ne babujjanjaba.