Tuzzeemu okulambika ebikwata ku ttaka kisobozese ab’ e Mutungo okutegeera
nti Dr. Kasasa ++abamulemesezza okumala emyaka 18, bakikola kifiriza kubanga ekituufu bakimanyi nti kitaabwe ettaka yalitunda mulamu.
Dokita , tazzanga musango okugula ettaka eryaliko erya Muteesa mpozi omusango gwe bayinza okumusaako kugaana kubawa ku ttaka lino kubanga baamutumirako n’abanene ng’eyali Katikkiro ekiseera ekyo Mulwannyamuli n’omuko w’embuga eyawasa Omumbejja Kagere kyokka n’agaana. Basooka kumusaba yiika 25 n’agaana kwe kuwaaba mu kkooti ng’olwo bamutumidde n’abanene abalala abasaba yiika 80 bwe yeerema ne gufuuka omusango.
Kwegamba bamuvunaana kugula ttaka eryali erya kitaabwe n’okulibamma.
Era singa gyali misango mu Buganda singa bamusimba dda mu kkooti ya Kisekwa.
Mu myaka 18 omusajja bamukoze buli kibi okumumenyamenya mu byensimbi n’omutima era bamusoosa ku poliisi nga beesize omunene naye ali ku ttaka eryo kyokka n’abazitowerera.
Muteekwa okukimanya nti Kasasa ye muntu eyagala ennyo Obuganda era yabuweereza n’amaanyi ge gonna.
Bwe twamutuukiridde yatunnyonyidde bwati: “Nnawereza obwakabaka okuva mu buvubuka bwange n’okutuuka ng’afuuse omuntu eyeebuzibwako eby’ensonga. Nnawerezaako mu Bwakakabaka bwa ng’omusawo ow’ekyama owa Sekabaka Muteesa era nnali mukwano nyo gwa Mutesa II n’anjagala nyo nga musajja we omwesigwa akuuma ebyama era omuwulizenankwaa n’ebyokujanjaba Abazaana omuli n’abazaala abamu ku bazaala abaana abantigomya.
Ndi musajja omuwulize eri Nnamulondo kubanga Sekabaka Mutesa II nnamuweereza era ne Ssaabasajja Kabaka Mutebi II naye namuweereza nga ye ssentebe wange mu Teefe Trust Bank gye nali nkola nga Chief Executive era nassaawa akawunta eyitibwa Nkuluze okulabirira Ssaabataka nga bwe yali ayitibwa Nolwekyo ebiseera ebyo.
Kati kantwale omukisa okubaako byembategeeza nga nnannyini ttaka ly’e Mutungo omutuufu.
1.Nze ali ku kyapa ky’ettaka eryo gwe bayita ‘Registered Proprietor’ okuva 1979 n’okutuusa olwaleero, gye myaka egisoba mu 40 ng’ettaka lyange bwoya lye nagula kubanga mu mateeka nga bbanka egenda kulitunda ku nnyondo era n’Omulangira Wasajja yakikakasa mu kakiiko ka Bamugemereire.
Wasajja ne bannalinya Kagere ne Nassolo tebalina kawandiiko konna , wabula bamala gakaayanira ttaka songa Mutesa II yagenda okukisa omukono mu 1969 nga wakayita omwaka mulamba ng’ettaka lye yalitunda mu 1968, nze nnagenda okuligula nga wayise emyaka 10 kasokedde Mutesa aliguza abantu abalala nze nnali muguzi wakusatu nabo kye bakkiriza .
Kale awo mu mateeka oyitawa?
Ebiwandiiko ebikakasa obwanannanyini bw’ettaka ly’e Mutungo nti lya Dokita webiri mu Minisitule ey’ebyattaka ne Bulaaya era nawe osobola okugendayo mu Lands n’obuuza era ojja kukizuula nti ettaka eryo libadde liri mu mannya ga Buwule Muhammand nga ye nze ayogera nammwe era kati emyaka 41 nga liri mikono gyange .
2. Mu mateeka oyo ali ku kyapa ye nnannyini ttaka ne kkooti kwezisibira . Ekyapa bwe bujulizi obwenkomeredde teri kkooti ejjanga kuddamu kunooya bujulizi bulala ng’ekyapa wekiri
Kale mmwe ab’e Mutungo temubuzabuzibwa.
Nze mukopi munnamwe nze ali ku kyapa ate nga ndiko mu butuufu.
Nga bwe nnasonda ssente ze nnagulamu ettaka okuva mu myaka gya 1950 nga nkya ssoma obusawo ku University e Makerere, ekibanja kyange ekyasooka nakigula Makereere-Kagugube okumpi ne LDC nga nsoma okuva ku bakyala 2 paka oluvannyuma ne Alhaji Musa Kasule eyali nnanyini lwe yanguza ekyapa mu ttaka nolwekyo nabe Mutungo- bwe mwandikoze.
3. Mukimanye nti okwesenza musango.
4. Mu mateeka ow’ekibanja talina buyinza kutunda kibanja kye nga nnannyini ttaka ssi gwasoose okuwa omukisa okugula oba okumukkiriza atunde ekibanja ekyo era ebyo bwe bitakolebwa, endagano ey’okutunda eba ekoleddwa ebeera nfu ne mu mateeka tekola kubanga okugula/okutunda kuba kufu bwe ffufululu ffu.
Atunda abeera atunze mpewo
ne gw’aguzizza naye ababeera aguze mpewo.
Bwokitunulamu n’obwegendereza ojja kukisanga ng’abamu ku bantu b’e Mutungo abali ku ttaka lyange bangi bagwa mu tuluba eryo: Tebajjanga gyendi nga nnanyini ttaka mbategeere basobole okusasula obusuulu, tebansasulanga busuulu era ssibamanyi ng’abebibanja abakkirizibwa mu mateeka.
Mw’abo mwe muli akabinja k’abantu abakozesa olukujjukujju nga bali n’abaana b’Engooma abajoozi.
Gwe kale bwe butaba bujoozi oddira otya omusajja Kiwanuka n’asalimbira ttaka lyange mbu yeeyita omwami wa Kabaka ku ttaka erya Dr. Kasasa ngate Dokita ssi Mulangira wabula omusajja omukopi!.
5. Okugamba nti nze simanyi nnanyini ttaka tekiyamba muntu ali ku ttaka eririko nnanyini lyo.
Etteeka ligamba nti ali ku ttaka ggwe olina obuvunaanyizibwa okunoonya nnannyini ttaka. Bino mbu tetumumanyi, tatweyanjuliranga oyo Wolokoso.
6. Okuyitibwa ow’ekibanja mu mateeka kitegeeza nti nnanyini ttaka akumanyi era ku ttaka lye wagendako mu mateeka era wano ebintu biri bisatu: oba ne Landlord, tenant, ne busuulu. Tenant awa obusuulu buli mwaka eri nnanyini ttaka .
Atali wa kibanja ali mu ttuluba lye twogedde tayita nnannyini ttaka Landlord kubanga naye ssi Tennant. Mu mateeka ekitabaganya enkolagana wakati wa Landlord n’owekibanja ali mu mateeka kusasula busuulu. Ne bwoba wa kibanja bwotasasula busuulu, landlord wa ddembe okutwala mu kkooti okwamuka ettaka lye.
Ow’ekibanja bwatawa busuulu aba yeegobye yekka ku ttaka.
7. Engeri gy’omanya nnanyini ttaka: Mu Registry mu minisitule ya Land balina enkola gye bagoberera okuyamba okuzuula ebikwata ku ttaka okuli ekibanja kyo kasita osasula ‘search fee’, ssente entongole era zisasulwa mu banka n’otwala lisiiti mu lands ne bakuwa Search letter okuli kalonda yenna akwata ku ttaka okuli n’amannya ga nnanyini ttaka, awo n’otandikira awo okumunoonya amateeka galeme okukukwata. Era ettaka ne bwelibaako envumbo, ebbaluwa ejja kukikulaga.
Kino kikulu nnyo mwenna mu kitegeere nti ettaka okubaako envumbo (Caveat Emptor ekitegeeza warning to the buyer ) tekitegeeza nti ettaka terikyali lya omuntu oyo ali ku kyapa. Nedda Caveat kuba kulabula nti omuntu ayagala okugula ettaka eryo weetegereze , tomala gagula naye kino kikola ku muntu onoonya okugula ettaka naye ggwe asangiddwa ku ttaka tolina bwogaana kunoonya nnanyini ttaka n’odda mu bya mbu ettaka liriko enkaayana. Enkaayana bwezirimala emyaka n’ebisiibo nga ggwe obeera ku ttaka nga tolina kyokusasula, ekyo kimenya mateeka , tewaliwo ttaka litalina nannyini lyo kubanga n’ettaka okubeerako enkaayana oba omusango okubeera mu kkooti tekitegeeza nti ettaka eryo lya bwereere nolwekyi osobola okulisaalimbirako.
Ekirala ate nga kikulu nnyo, nnanyini ttaka obwannanyini bwe ku ttaka eririko envumbo tebumuggyibwa buyinza nga nnannyini ttaka era ettaka erissiddwako Caveat terikyusibwamu kuva mu mannya gannanyini ttaka okudda mu mannya aga bantu abalala nebirala bwe bityo. Obuyinza bwe ku ttaka lye busigalawo era asobola okugenda mu kkooti n’alaga ekyapa kye ekyo ekiriko envumbo n’emuwuliriza nga nnannyini omutuufu n’emukkiriza okugoba ku ttaka lye abalisaalimbirako wadde nga liriko envumbo.
8.Abali ku ttaka ebweru w’amateeka musango gwennyini okwesenza ku ttaka nga nnanyini ttaka tabamanyi.
era mubeera ba Trespasser – Abasaalimbi tebabeera mu mateeka era kino nkikoze okukendeeza ebiseera tusobole okutegeeragana nga buli omu amannyi etteeka kye ligamba kubanga ne kkooti
etulagira okusooka okutegeeregana.
Sirina gwengoba ku ttaka okuggyako oyo anaagaana okutegeeragana oba oyo anaasalawo nti Kampala city agaanye, naye ssi nze mugobye. Amazima gali nti essaawa etuuse, oba kangambye nti essaawa yayita dda okuzza amagoba mu ssente ze nnasigga mu ttaka lye Mutungo.
Tujja kutegeeregana .