Abalimi mu Disitulikiti y’e Buikwe bagala gavumenti munteekateka yaayo okutukiriza ebigendererwa bya vision 2040 ne NDP3 elowooze enyo kummere enansi elabise nga egenda esanawo so nga yamugaso nyo eri obulamu bwo omuntu

Okusinzira kwa Akulira Ekitongole ekitakabana okulaba ng’emmeere ennansi tesanawo ekya Slow Food – Uganda Edward Mukiibi agamba nti mu ntekateka ya National Development Plan 3 (NDP.3) govumenti gyetambuza ensangi zino n’omulimi owawansi talowozeddwako nadala mukutumbula emere enansi. Ono agamba ebisera ebisinga govementi elowooza ku mere yakutunda yoka neyelabira emere ezimba obwongo bwo omuntu yesonga lwaki endwadde nyingi nyo mubaana so nga ne emere enansi esobola okulimibwa netundibwa.

Bino Edward Mukiibi abyogerede ku mukolo gw’okujaguza olunaku lwa (Tera Madre) ekivunulwalwa nti ettaka ye nnyaffe ku kyalo Bujaaya mu gombolola ye Najja mu district ye Buikwe abalimi gye bakuganidde okwolesa emigaso egiri mumere enansi
Mukiibi ayagala watekebwewo enkola namutayika eyongera omutindo ku mulimi omutono nti kubanga yayimirizawo eggwanga era abalimi basomesebwe kumere enansi kubanga nayo esobola okulakulanya muna uganda.

Abalimi bagamba nti emere enkolelele esanizawo obutonde bwensi ekivirideko ettaka okwononeka kubanga yettaga eddagala ebilime okukula so nga emere enansi yali teyataga ddagla okujako obutonde wano webasabidde gavumenti nadala kumagombolola okubagabira ensigo zinasangwa nazo bazileme okusinga enkolele.
Nakibonjjo Bennah nga mulimi Mutukolelewamu group eBuikwe agamba nti abakulembeze badibadde balowooza okuwa abalime ensigo nansangwa nayo bagilime bwebanasobola okutumbula emere enansi mu gwwanga.
Agamba nti ensigo amagombolola gye gagaba yetaga eddagala elyonona obutonde ate nga nabalimi mubyaalo tebasobola kulifuna nga singa nensigo nasangwa nazo zigabibwa kiyiza okubaguwira okuzilabilira kuba tezetaga ddagala lyakugula.
Abalimi balaze okunyorwa olwengeri gavumenti bwe genze eddibyamu emere enansi songa emere eno ddagala elye yambisa mukujanjaba endwadde enkambwe neleeta emere enkolele eyononye ettaka.Wabula newankubadde abalimi bagezezako okwekemba nebalima emere enansi mubungi basomozebwa nebula lya akatale wano webasabidde watekebwewo obutale obutunda emere eno kibasobozese okwongera okugirima mubungi.