Abalimi bawabudde Gavumenti ku buwumbi bwa ssente bw’essa mu by’obulimi naddala obw’emmwanyi nti eziggyemu abakozi baayo abaziremesa okubatuuka.
Bano abazze bettanire enteekateeka za Gavumenti bagiwadde amagezi nti yeekenneenye abakozi baayo ng’eggyamu abagotaanya buli nteekateeka zaayo ne zigwa butaka.
Mubaddemu abaweebwa pampu ezifukirira nga zikozesa amaanyi g’enjuba n’abebyuma ebizisunsula ne batunda kasse.
Erinest Kisambu Munene eyali Ssentebe wa LCIII e Kyamuliibwa Rural ng’ono yaweebwa Papu efukirira ebirime.
Munene yeebazizza Gavumenti okumuwa pampu eno nti emuyambye okufukirira emmwanyi, ebitooke n’ebirime ng’emboga n’ennyaanya.
Wabula alaze ebirumira mu pulojekiti eno olwa ssente ennyingi ng’abafunampola tebagiyinza.
Munene akitadde ku bakozi ba Gavumenti abaagala enjawulo esusse ne batatuusa buweereza bwa mutindo gw’ebintu omutuufu.
Ken Kigoonya ne Saalongo Siraje Kafeero boogedde ku lwa bannaabwe mu kibiina kya Lwabenge Coffee Farmers Cooperative Society.
Bano beebazizza Gavumenti okubawa ekyuma ekisunsula emmwanyi okuzongerako omutindo nga beekubira kase.
Baaniriza enteekateeka y’okubongera ssente batandike n’okuzikolamu kaawa.
Kyokka Kigoonya ne Kafeero beekokkodde enkola eyamancoolo efumbekedde.mu bakozi ba Gavumenti.
Basabye Pulezidenti ne Ssabaminisita okusindika bambega ab’ekyama mu byalo okulaba engabanya etaliimu bwenkanya.
Kafeero akkiriziganyizza ne Munene nti waliwo abaweebwa ebijimusa ebingi nga tebalina wadde omuti gw’emmwanyi ogumu.
Bagambye nti omutindo gw’emmwanyi okulinnya ng’ebintu biweereddwa abantu abatuufu mu bungi obubamala.