Ebikwekweto ebikoleddwa poliisi wamu n’eggye lya UPDF mu Mukono byayodde abantu 10 abagambibwa okubeera abakabinja k’ababbisa emmundu abatigomya Kampala n’emirilaano.
Kino kyaddiridde abasajja babiri abaalina emmundu y’ekika kya AK47 okulumba Ssemaduuka mu Munisipaali ye Mukono nebaginyaga oluvannyuma lw’okusalako eyali agikuuma nebakuba eyali akwata ensimbi era nebatwala omuwendo ogutamanyiddwa.
Kigambibwa nti obubbi obwengeri eno bubadde buyitiridde ekyawaliriza ab’ebyokwerinda okusitukiramu.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yategeezeza nti oluvannyuma lwebyo ebyakwatibwa kkamera nga babba Ssemaduuka basazeewo okukola ebikwekweto mu kitundu kino kuba ababbi bano bamaze ebbanga nga batigomya ekitundu kino.
“Ab’ebyokwerinda okuli Flying Squad, Poliisi ye Mukono ne UPDF bakutte ababbi 10 ababadde batigomya bannamukono,Enanga bweyategeezezza.
Abakwate kuliko Reagan Ndugga, John Kalyango, Nathan Kirumira, Eria Kizito, William Mugalu, Sam Mbogo,Ismael Ssekkubulwa,Asuman Kinagodawa,Umaru Katende nategeerekeseeko erya Golola.
Okusinziira ku Enanga yazudde ebimu ku bibbe omuli Pikipiki ttaano, emmotoka 2 nga bino bwagattiddwa kwebyo ebyali byabbibwa nga byonna babitwalira ku mudumu gwa Mmundu era bano bakakasizza nti bebabadde emabega w’obubbi buno.
Enanga yategeezezza nti ababbi bano okusinga bakozesa ebijambiya okutigomya n’okubatwalako ebyabwe.
Ono yategeezezza nti bakugenda mu maaso n’ebikwekweto bino mu Mukono okutuusa nga ababbi bano bonna batuuliddwa ku nfeete.