17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Abantu 13 bagudde mu mugga Kiyira.

Police ng’e kozesa ba lubbira baayo mu district ye Apac etandise omuggo gw’abantu 9 abateeberezebwa okuba nga bafiiridde mu kabenje k’Amaato akagudde ku mugga Kiyira.

Abagudde mu mazzi kuliko  Lotyang Peter, Lotham Simon, Ngole Simon,Lomuria John, Lukuwam Joseph n’abalala, kigambibwa baagudde mu mugga Kiyira mu district ye Apac, oluvannyuma lw’okwekandagga nebaabulira bakama babwe mu kampuni y’Ebinazi eya Mazuri Palm Oil project farm ekulirwa bannansi ba Buyindi, nga bagamba tebasasulwa bulungi.

Abateeberezebwa okuba abagenzi kigambibwa nti basazeewo boolekere district ye Masindi banoonye emirimu emirala, kyokka webatuukidde ku mwalo gwe Kigungu basanze ekidyeeri kigenze, kwekupangisa amaato abiri bagende e Masindi.

Kizuuse nti nga bali wakati mu mazzi, amaato gaalemereddwa okusala amazzi n’ekyaddiridde kwabadde kugwa mu mugga.

Ba kaawonawo 4 okuli Muleka Bosco, Byekwaso Godfrey ababadde bavuga amaato gano n’abalala okuli Locire Simon ne Lukwampe Peter abaabadde abasaabaze baddusiddwa mu malwaliro agali okumpi bafune obujjanjabi.

Omwogezi wa poliisi mu North Kyoga Jimmy Patrick Okema, agambye nti abantu 13 bebabadde ku maaso, era nga kati bakola kyonna ekisoboka  okuzuula emirambo gy’abantu 9 abakyabuze.

Related posts

Ebikwata ku  Ruto, Pulezidenti wa Kenya omulonde.

OUR REPORTER

Abavubuka  baffiridde mu Daamu.

OUR REPORTER

Ukraine ekubye olutindo olugatta Russia ne Crimea.

OUR REPORTER

Leave a Comment