22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abantu 16 babuze, bateeberezebwa okwegatta ku ADF.

Abantu 16 nga abavudde ku kyalo kimu babuze, bateeberezebwa okuba nti begasse ku batujju ba ADF.

Ebitongole by’eby’okwerinda ebirwanyisa ebikolwa eby’obutujju biri ku muyiggo gw’abantu bano, abavudde mu nnyumba ezenjawulo.

Okusinziira ku police abantu abateeberezebwa okwegatta ku kabinja ka ADF babadde babeera mu bitundu bye Kkonge- Lukuli mu ggombolola ye Makindye mu Kampala.

Baavudde mu maka okuli aga Abdul Rahman amanyiddwa nga Sseruwenda, Abudul Rashid amanyiddwa nga Ssemaganda, Ashiraf Lusiba, Hussein Waligo ne ya Ibrahim Kintu.

Fred Enanga ayogerera police mu ggwanga agambye nti abaabuzeewo babadde bakola emirimu egy’enjawulo okuli okuvuga boda boda, n’okutema ennyama wabula gyona bagisuddewo nebagenda okwegatta ku kabinja ka ADF.

Fred Enanga ategezezza nti bagenze n’abaana abali wakati w’emyaka 5 – 7 bebaatutte mu bikolwa ebyekiyeekera.

Fred Enanga ategezezza nti Police bendo bendo lye Rwenzori etwala district ye Kamwenge, eriko byeyongedde okuzuula, oluvannyuma lw’okukwata omuvubuka ow’emyaka 28 ayitbwa Bwambale Sadadi ku byekuusa ku bikolwa eby’ekitujju.

Kigambibwa nti Bwambale yakwatiddwa ng’agezaako okukola obulumbaganyi ku kkanisa eyalimu abantu nga basinza obudde obw’ekiro.

Related posts

Mugumbule asabye abantu okujjumbira enteekateeka za Buganda.

OUR REPORTER

Kkooti egobye okusaba kwa Ssegiriinya ne Ssewanyana okweyimirirwa

OUR REPORTER

Abalamazi  okuva mu Ankole  abatambuza ebigere batuuse e Lukaya.

OUR REPORTER

Leave a Comment