17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abantu 20 bawoonye okufiira mu kabenje nka bus e Ntungamo.

Abantu abasuka 20 bawoonye okufiira mu kabenje, Bus ziitomereganye ku lutindo Katinda ku luguudo oluva e Ntungamo okugenda e Kabale.

Bus namba RAD 795B kika Kya Hyundai okuva mu kampuni ya Volcano yetomereganye ne bus namba RAC 704L ekika Kya Scania okuva mu kampuni ya Trinity

Kigambibwa nti abantu abasukka mu 20 bafunye ebisago ebyemaanyi era ne baddusibwa mu ddwaliro okuli  Itojo Hospital ,Mbarara hospital ne Doctor’s  hospital  Rubaare okufuna obujjanjabi obusookerwako.

Kigambibwa nti Bus namba RAD 795B Hyundai ebadde eva mu district ye Ntungamo okudda e Kabale, ezze ku Mukono gwolutindo lwa Katinda ogutali gwayo nga yepena ebinnya ,ekigiviiriddeko okukonagaana ne bus Scania ebadde eva Kabale okudda e Ntungamo.

Omwogezi wa police ye bidduka mu ggwanga Faridah Nampiima agambye nti okunoonyereza kutandise okumanya ekituufu ekivuddeko akabenje.

Related posts

Gavumenti eragidde abaana bonna okuwummula nga 25 Novemba.

OUR REPORTER

Owa UPDF akkirizza ogw’okubba vanilla wa bukadde 15.

OUR REPORTER

Be baasazeeko layini za masimu basattira.

OUR REPORTER

Leave a Comment