17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abantu 3 bataasiddwa okufiira mu mugga Nyamwamba e Kasese.

Abantu 3 bataasiddwa okuva mu mugga Nyamwamba mu district ye Kasese, nga bano baabadde bagudde mu mazzi g’omugga guno ogwabooze negusalako amakubo.

Abannyuluddwayo kigambibwa nti bakozi mu kirombe kya Kirembe Mines LTD.

Entambula esannyaladde mu District ye Kasese  oluvanyuma lwómugga Nyamwamba okuddamu okubooga era batuuze ku byaalo ebisoba mu 10 tebakyasobola kutambula.

Okusinziira ku alipoota ye kitongole kya Uganda Redcross, abatuuze ku byalo okuli Nyakasanga, Kamwirikwizi,Salut A and B,Mawa Market, Kitoro,Kisagazi ne birala betaaga okusengulwa amangu olw’amazzi nga námayumba agasinga gali kubwerinde.

Akulira ebyempuliziganya mu kitongole kya Red Cross John Cliff Wamala agambye mu kiseera kino babakanye n’eddimu ly’okusengula abantu abasoboka olwe mbeera etabuse mu kitundu kino.

Related posts

Abasiraamu basabiddwa okukolagana ne bannaabwe ab’enzikiriza endala.

OUR REPORTER

Ekirwadde kya namusuna   kitadde  abatuuze  be Luweero ku bunkenke.

OUR REPORTER

FDC  ewadde Pulezidenti  amagezi okulonda Gavana wa bbanka enkulu ebyenfuna okutereera.

OUR REPORTER

Leave a Comment