Abantu 4 ababadde mu bbaala ku Boston e Makindye be bateeberezebwa okuba nga bakubiddwa amasasi omu n’afiirawo ate abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka.

Kigambibwa nti omukuumi wa Kamuswaga atannategeerekeka mannya ye yakubye abantu bano amasasi era kiteeberezebwa nti entabwe evudde ku mukazi gwe bakaayanira.
Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza nga n’ebisingako wano tujja kubibatuusaako.