JOAN KAGEZI; Ono yali muwabi wa gavumenti era yeyali mu musango gw’abatujju.ono yakubwa amasasi abantu abali batambulira ku pikipiki agamuttirawo nga 30/03/2015 mu bitundu bye kiwatule bye yali ayimiridde okubako byagula.
MAJ. MUHAMMED KIGUNDU; Ono ye yali bba wa maama Fiina, yakubwa amasasi n’abakuumi be agabattirawo, nga naye abagamukuba bali batambulira ku pikipiki mu bitundu bye Masanafu nga 26/11/2016 bwe yali ava mumakagabwe agasangibwa e Bulenga.

ANDREW FELEX KAWEESI; Ono ye yali omwogezi wa poliisi mu gwanga.Yakubwa amasasi awamu n’abakumi be mu bitundu bye Kulambiro bwe yali agenda ku kitebe kya poliisi e Mbuya. Ono we bamuttira kumpi we babadde bagala n’okuttira Gen. Katumba Wamala.

IBBRAHIM ABIRIGA; Yeyali omubaka wa Arua mu palamenti, ono abantu abatategerekeka bamukuba amasasi agamuttirawo nga 8/06/2018 okumpi n’amaka ge agasangibwa e Kawanda mu disitulikiti ye Wakiso.

AFANDE MUHAMMED KIRUMIRA; Ono yaliko DPC wa Old Kampala ne Buyende, ono naye abantu abatategerekeka bamuteega ne bamukuba amasasi agamuttirawo n’abantu be yali atambula nabo mu mmotoka nga 8/09/2018 okumpi n’amaka ge agasangibwa e Bulenga mu disitulikiti ye Wakiso.

Abantu abalala bangi omuli n’abakulembeze babasiramu abazze battibwa mungeri eyekikangabwa nga bakubwa masasi mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.