Arsenal tebadde na sizoni nnungi oluvannyuma lwokuvaayo nga tetutteeyo kikopo kyonna nga kwogasse nokusitaana okwegatta mu kuzannya empaka za Bulaaya sizoni ejja. Omutindo gwa Arsenal guvudde ku basambi abekiwogwe mu bitongole byonna okuva ku kikwasi kya goolo, ekizibizi, ekiwuwuutanyi n’ekiteebi. Kino kiretedde abasambi abamu okulaga nga bwebagenda okuva mu ttiimu eno ate nga abalala omutendesi Mikel Arteta simwetegefu kubongera mukisa mulala. Mu basambi bano mulimu abakakasiddwa okuva mu kirabbu nabo abaagala okugenda.
1. David Luiz: Omuzibizi ono aweza emyaka 34,, omutendesi we Mikel Arteta yavuuddeyo naakakasa nga bwagenda okuva mu Arsenal nga sizoni eweddeko. Luiz yegatta ku Arsenal mu 2019 era nga ajisambidde sizoni bbiri ezijjudde, emipiira 73 ne goolo 4. Luiz yategezeza nti wakugenda maaso n’obulamu obupya nga avudde ku Arsenal wabula nga tekinategerekeka wa gyalagga. Arteta yassaaliddwa nnyo okugenda kwa Luiz kubanga abadde omu kubasambi basing okukiririzaamu ennyo olwobukulembeze bwe.
2. Hector Bellerin: Omuzibizi Bellerin naye wakutambulamu nga sizoni eweddeko oluvannyuma lwokukiriziganya ne kirabbu newankubadde nga omutendesi Arteta yagezaako nnyo okumumatiza okusigala naye byagaana. Ono yasembayo okusambira Arsenal ku mupiira gwa Chelsea era bwatyo nafuna obuvune, wabula nga kyandiba nga gwemupiira gwe ogwasembayo ku Arsenal.
3. Lucas Torreira: Sizoni eno yonna ajimaze ku Atletico Madrid mu Spain era nga yomu ku basambi omutendesi Arteta beyalagirawo nti teyeetaga. Wadde ngono yali yakagulibwa omutendesi Unai Emery okuva mu Sampdoria nga ye yali alina okuba ekinnya. Torreira yasinzidde mu Atletico nategeeza nga bwatayagala kudda mu Arsenal era najisaba emutunde ku kirabbu ezimwetaaga.
4. Willian: Omuwuwuutanyi wa Arsenal Willian Borges da Silva naye akyataddewo okutiisatiisa nga bwayina okutambulamu okugenda mu kirabbu endala. Willian omutindo gumweganye mu Arsenal sizoni yonna era nga ateebye goolo emu yokka mu sizoni yonna nga kwotadde okwetaba mu goolo musanvu zokka. Wogeragerannya omutindo gwe kwogwo mu biseera bye mu Chelsea. Ono yensonga lwaki ayagala okutambulamu era nga Inter Miami yemwetaaga.
5. Bernd Leno: Ebiva mu Arsenal biraga nti omukwasi wa goolo ya Arsenal asooka Bernd Leno ayagala kuva mu Arsenal newankubadde nga ayinza okulindako endagaano ye esigazaako emyaka ebiri egweko alyoke atambulemu. Ono simwetegefu kuzza bujja ndagaano era nga omutindo gwa Arsenal gwandiba nga tegumuganyiza kufuna ku kikopo kyamuzinzi ate nga kyekyali ekirooto kye.
6. Runar Alex Runarsson: Omukwasi wa goolo omuIceland yegatta ku Arsenal nga ava mu Dijon mu mwaka gwa 2020, wabula nga yakazannya emipiira 6 gyokka ate nga ogwa liigi guli gumu gwokka. Olwo mutindo gwe okuba wansi ennyo, Arsenal kyajiwaliriza okuleetayo ne Kippa omulala, Ryan Mason okuva mu Brighton & Hove Albion era nga kyeraga lwatu nti Runar siwakuweebwa mupiira. Kino kimuleetedde okwagala okutambulamu avve mu Arsenal.
7. Dani Ceballos: Ono musambi wa Real Madrid wabula nga amaze sizoni bbiri nga muwole mu Arsenal, naye nga omutindo gwe gukyagaanye okwambuka okukyusa ku ttiimu eno. Sizoni wegwako wakutambulamu agende addeyo wabula nga tekimanyiddwa oba ne kuluno omutendesi Arteta anamusabayo mu Madrid.
8. Martin Odeegard: Musaayi muto wa Real Madrid naye ali ku bbanja mu Arsenal wabula nga omutindo gwe nengeri gyagabamu akapiira, byandireka Arsenal nga ekuba mimiro oluvannyuma lw’omutendesi we ku Real Madrid Zinedine Zidane okutegeeza nti ye tatunda msambi we. Sizoni olunagwako wakuddayo mu Madrid.
David Luiz wakwabulira Arsenal